🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Balondodde money lender abadde ava mu bbanka ne bamunyagako obukadde 28

Poliisi etutte embwa ekonga olusu, n'etambulako Mmita nga 30 n'ebulwa ababbi naye ng'omuyiggo gugenda mu maaso.

Balondodde money lender abadde ava mu bbanka ne bamunyagako obukadde 28
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Ababbi abatannategeerekeka, balondodde omukazi awola ssente ng'ava mu bbanka, ne bamunyagako obukadde 28 ne babulawo.

 

Poliisi etutte embwa ekonga olusu, n'etambulako Mmita nga 30 n'ebulwa ababbi naye ng'omuyiggo gugenda mu maaso.

 

Bibadde ku kyalo Kasugu A ku luguudo oluva e Mayuge okudda e Musita, Proscovia Naigaga omutuuze w'eddwaliro zzooni e Mayuge Town council ng'avunaanyizibwa ku loan mu kibiina ky'abakyala, bw'abadde atambuza ssente zino ku bbooda okuva e Lugolole trading centre.

 

Kigambibwa nti alinnye pikipiki ng'adda e Mayuge nti agivuga atuuse mu kifo ne yeefuula agezaako okugikanika nti era wano abasajja babiri ababadde babawondera kwe kusikambula akasawo okuva ku mukyala oyo ne babulawo.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti bba Titus Maani, ensonga aziroopye ku poliisi era ne basitukiramu okuyigga ababbi abo.

Tags: