Abazigu balumbye ebyalo ne batta abafumbo babiri n'okulumya abawerako ne bakuuliita ne ssente amasimu, pikipiki n'ebintu ebirala.
Poliisi etutte embwa kyokka olw'okutonnya kw'enkuba, terina kya maanyi ky’ezudde okuggyako enkumbi ekozeseddwa mu ttemu .
Ku kyalo Lukaya e Bugonzi, ababbi era bayingiridde Sophia Nalukenge 40 ne bamukuba akatayimbwa ku mutwe ne bamubbako essimu ssatu. Atwaliddwa mu Royal Medical Clinic gy’afunira obujjanjabi.
Ku kyalo Kayanja e Nsengwe , ababbi abeebijambiya, balumbye amaka ga Onesmus Tumwebaze ne bagamenya ne babatuusaako ebisago ne mukyala we Agatha Kukundakwe. Babbye essimu bbiri okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, bali ku muyiggo gw'abatemu bano.