ABAKOZI bangi balungi, kyokka olw’embeera ereetebwa abakozesa n’abo ababadde abalungi basobola okwonooneka, ekintu eky’omutawaana eri nnyini bizinensi.
Jjukira wiiki ewedde twatandise n’omulamwa ogukugaana okukkiriza okufiirwa abakozi bo abalungi, nga tutunuulira by’olina okukola okulaba nga basigala ku mulamwa.
Ku mulundi guno aba Firmbee, ekitongole ekirina obukugu mu kuzuula abakozi abalungi n’okubakuumira ku mutindo, batuwadde olukalala lw’ensobi ezikolebwa abakozesa oba bayite bannyini bizinensi ne kivaako abakozi okwonooneka ga bwe zirambikiddwa wammanga:
• Obutali bwenkanya: Abakozesa bwe batandika okukola mu nkola etali ya bwenkanya eri abakozi, kibaleetera okulowooza nti tebeetaagibwa era bwe batyo ne batandika okukola ngatebeefiirayo, oba okunoonya engeri gye beesasuzaamu.
Enneeyisa enkyamu ereetera abakozi okulowooza nti mukama waabwe simwenkanya era ng’eno gy’alina okwewala erabikira mu; misaala, akasiimo, engaba y’emirimu n’okusosola.
• Embeera embi abakozi mwe bakolera: Waliwo embeera esukka nga tewali muntu yandyagadde kugikoleramu.
Mu mbeera efaanana bweti toyinza kusuubira bakozi kukola mirimu mu nkola esingayo obulungi era tekisaana kukwewuunyisa nga beediimye. Okugeza bayinza okuba nga basula bubi nnyo, balya oba kitwale nti tebakkutta, batulugunyizibwa era nga batuusibwako obukambwe obususse. Bano bwe beekyawa bayinza n’okutuusa obulabe ku mukama waabwe.
• Okusosola: Okusosola mu nsi nnyingi ne mu makampuni mangi musango gwennyini.
Kyokka kino tekigaana bantu kugenda mu maaso na kusosola. Ekyennaku akikola
tamanya bulabe bw’aba aleetera kkampuni, ekitongole oba bizinensi. Okusosola okusinga obunene kujjira mu kutinka abakozi abamu nga baweebwa emisaala emisava awatali nsonga, n’okubakuza ku mirimu wadde si be basaanidde okukuzibwa. Okusosola
kuno olumu kwesigama ku ddiini, eggwanga, ekika, ekitundu omuntu gy’ava, ku kikula ky’omuntu (Omukazi oba omusajja). Bino abakozi bwe babiraba bayinza okuwalirizibwa okwesaliraamagezi oba okukola nga tebeefiirayo kubanga balwooza nti abatinkibwa be basinga okufunamu era be baba bafa n’emirimu.
• Okubulawo amateeka agalambuluddwa agateekeddwa okugobererwa buli mukozi: Kkampuni nnyingi zikikola kyokka bizinensi entonotono tezitera ne kiba ngekitegeeza nti abakozi basuubirwa okweyisa mu nneeyisa bo gye balowooza nti yeesaanidde. Ekyennaku omuntu teyatondebwa bwatyo, omuntu emirundi mingi takola kye yeetaaga
oba ekyetaagisa wabula akola ekyo ye ky’ayagala. Amateeka gano tegeetaaga kukoma ku kuwandiikibwa ne gasomebwa buli mukozi wabula abakozi beetaaga okutendekebwa mu go era bonna ne bagassa mu nkola watali kutiira muntu ku liiso. Naye entendeka
esingayo okuba ennungi ye y’abakulembeze bennyini okubeera ekyokulabirako mu kukwata amateeka ago.
Abeeyisizza mu nneeyisa esukkulumye ku yaabulijjo basaana okuwaanibwa n’okusiimibwa mu lujjudde.
• Obutabaawo mpuliziganya ennung’amu: Maneja omulungi ateekwa okuba n’obusobozi
obuwuliriza abakozi asobole okumanya ebibasumbuwa oba ebibasoomooza. Kyokka bwe wataba mpuliziganya ntuufu, kino kizibu okubeerawo.
Katonda yatonda omuntu ng’ayagala okuwulirizibwa era ensonga ze zitwalibwe nga nkulu. Abakozi bwe bakkirizibwa okutuusa ebirowoozo byabwe eri bakama baabwe muno mwe muva obuyiiya obulungi obujja okuvaamu enkola ekulaakulanya kkampuni.
Kkampuni ezitalina mpuliziganya ey’ekika kino, zikona ate era n’abakozi emirundi mingi bava ku mulamwa era tebafa ku bigenda mu maaso, ekintu eky’obulabe.
• Obutakwata nsonga mu bwangu: Bwe wabaawo enkola enkyamu atandiikirizza kikulu nnyo okugikwata amavumavumba nga tennafuuka kigenge. Abakozesa bangi bamanya obuzibu obuliwo kyokka ne balwawo okubukolako. Buli lw’olwawo okukola ku kizibu kyeyongera okugejja ate gye kikoma okugejja gye kikoma okuwa ekyokulabirako ekikyamu ekiyinza okwonoona enneeyisa y’abakozi abalala.
• Obutabaawo bulondoozi: Nga bwe nnakikoonyeeko waggulu, Katonda yatonda omuntu nga mwewagguzi, tayagala kukola era buli kiseera anoonya engeri y’okwewala emirimu. Bino okubirwanyisa oteekwa okusaawo enkola erondoola buli mukozi okuzuula engeri
gy’addukanyaamu emirmu. Bwe bakizuula nti teri alondoola nga nabo babivaako olwo nga banoonya bye banaakulimba.
Ensonga eno tujja (mu maaso eyo) kujoogerako mu bujjuvu tusobole okuginogera eddagala. Obwo bwe bumu ku bunafu bw’olina okwewala obutera okuvaako abakozi ababaddeabalungi okwonooneka era bw’obugenderera n’obwewala ojja kusobola okukuuma, abakozi bo nga balungi.