POLIISI y’e Iganga ekutte omusajja abadde yeeyita Agenti wa Stanbic Bank, abadde akozesa olukujjukujju n’abba ssente z’abayizi ab’ettendekero ly’Abasawo erya Lubega Institute of Nursing and Health Professionals Iganga nti, azisindika ku akawunti y’ettendekero kyokka ng’azeekomya. We baamugwiiriddemu nga yaakabba obukadde 180. Joshua Mwesigwa,35, abadde aggya ssente ku bayizi n’abawa ne Bank slip eraga nti, zigenze ku akawunti y’ettendekero eya Stanbic Bank wabula ettendekero lyagenze okwetegereza nga ku akawunti teziriiko.
Omwogezi wa Poliisi mu Busoga East, Michael Kasadha, yategeezezza nti, ono okukwatibwa kyaddiridde ettendekero okugoba abayizi abawera 89 okuli ne muwala w’omubaka wa Bubulo East, John Musila.