Amawulire

Agambibwa okubba ssente z’essomero obukadde 180 bamukutte

POLIISI y’e Iganga ekutte omusajja abadde yeeyita Agenti wa Stanbic Bank, abadde akozesa olukujjukujju n’abba ssente z’abayizi ab’ettendekero ly’Abasawo erya Lubega Institute of Nursing and Health Professionals Iganga nti, azisindika ku akawunti y’ettendekero kyokka ng’azeekomya. We baamugwiiriddemu nga yaakabba obukadde 180. Joshua Mwesigwa,35, abadde aggya ssente ku bayizi n’abawa ne Bank slip eraga nti, zigenze ku akawunti y’ettendekero eya Stanbic Bank wabula ettendekero lyagenze okwetegereza nga ku akawunti teziriiko.

Mwesigwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI y’e Iganga ekutte omusajja abadde yeeyita Agenti wa Stanbic Bank, abadde akozesa olukujjukujju n’abba ssente z’abayizi ab’ettendekero ly’Abasawo erya Lubega Institute of Nursing and Health Professionals Iganga nti, azisindika ku akawunti y’ettendekero kyokka ng’azeekomya. We baamugwiiriddemu nga yaakabba obukadde 180. Joshua Mwesigwa,35, abadde aggya ssente ku bayizi n’abawa ne Bank slip eraga nti, zigenze ku akawunti y’ettendekero eya Stanbic Bank wabula ettendekero lyagenze okwetegereza nga ku akawunti teziriiko.
Omwogezi wa Poliisi mu Busoga East, Michael Kasadha, yategeezezza nti, ono okukwatibwa kyaddiridde ettendekero okugoba abayizi abawera 89 okuli ne muwala w’omubaka wa Bubulo East, John Musila.

“Abadde abawa Bank slip enjingirire eziraga nti, baasasula kyokka ab’ettendekero baagenze okwetegereza nga ssente tezituukanga ku akawunti ya ttendekero,” Kasadha bwe yagambye, n’agattako nti, Poliisi eri mu kunoonyereza Agenti engeri gy’abadde akolamu ebintu bye, sinnakindi nti, ayinza n’okuba ng’alina b’akolagana nabo.
Omu ku bakulira ettendekero yawakanyizza ebigambibwa nti, beekobaana n’omufere ono okubba abayizi n’abazadde ne Banka nayo ne yeesamba Mwesigwa nti, si Agenti waabwe. Kasadha yategeezezza nti, Mwesigwa yagguddwaako emisango okuli okujingirira ebiwandiiko, okukozesa ebiwandiiko ebyobulimba n’okwefuula ky’atali, ng’essaawa yonna waakusimbibwa mu kkooti abitebye.

Tags: