Amawulire

Abaneenyigira mu kubba ebigezo babataddeko ebibonerezo ebikakali!

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kubaga n’okugolola ebigezo by’abasoma ebyemikono ne bizinensi ki Uganda Vocational and Technical Assessment Board (UVTAB) kireese ebibonerezo ebikakali eri abo bonna abaneenyigira mu kubba ebigezo. 

Abaneenyigira mu kubba ebigezo babataddeko ebibonerezo ebikakali!
By: Sharon Nabasirye, Journalist @New Vision

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kubaga n’okugolola ebigezo by’abasoma ebyemikono ne bizinensi ki Uganda Vocational and Technical Assessment Board (UVTAB) kireese ebibonerezo ebikakali eri abo bonna abaneenyigira mu kubba ebigezo.

Oyesigye ng'annyonnyola.

Oyesigye ng'annyonnyola.

Ebibonerezo bino byakukwata amatendekero gennyini , abayizi , wamu n’abanaalondoola entambula yaabyo era ebibonerezo bino  byakutandika essaawa yonna.

 

Ssaabawandiisi w’ekitongole Onesmus Oyesigye bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kyabwe e Kyambogo yagambye nti amateeka gano gaakukwata buli nnakigwanyizi eyeegumbulira okubba ebigezo ekintu ekivumaganya ekitongole.

 

Mu mateeka gano amapya , emisango gy’abayizi omuli okweyambisa amasimu , okubaako we bassa ebintu ebibayambako okukopa nga bali mu bibuuzo , okweragirira n’ebirala baakubonerezebwa mu ngeri eyinza okubasazisaamu ebibuuzo byabwe oba okugobwa.

 

Okutuulira omuntu ebibuuzo ku luno kwakuleetera omuntu okusasula engassi ya bukadde 40 oba okusibwa emyaka 5 .

 

Abalondoola entambula y’ebigezo  abagaba akasasi ,oba okuyambako amatendekero okukafuna , okukyusa obubonero, okubuza ebigezo, obutaloopa masomero geenyigidde mu kkopa baakuvunaanibwa.

 

Okukusanga ng’osaba abayizi ensimbi z’okwewandiisa okukola ebigezo  bya UVTAB ezisukka ezo ezaagerekebwa , owa engassi ya bukadde 100 n’okusibwa emyaka 10 wamu n’okuddiza abayizi ensimbi zaabwe.

 

Oyesigye agamba okukuuma ekitiibwa ky’ekitongole mu bannansi essaawa eno kintu kikulu nnyo gye bali era sibeetegefu kukifiirwa .

Tags:
Amawulire
Uganda Vocational and Technical Assessment Board
UVTAB
Onesmus Oyesigye
Bigezo
Kubba
Kwenyigira