EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku kubaga n’okugolola ebigezo by’abasoma ebyemikono ne bizinensi ki Uganda Vocational and Technical Assessment Board (UVTAB) kireese ebibonerezo ebikakali eri abo bonna abaneenyigira mu kubba ebigezo.

Oyesigye ng'annyonnyola.
Ssaabawandiisi w’ekitongole Onesmus Oyesigye bwe yabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kyabwe e Kyambogo yagambye nti amateeka gano gaakukwata buli nnakigwanyizi eyeegumbulira okubba ebigezo ekintu ekivumaganya ekitongole.
Mu mateeka gano amapya , emisango gy’abayizi omuli okweyambisa amasimu , okubaako we bassa ebintu ebibayambako okukopa nga bali mu bibuuzo , okweragirira n’ebirala baakubonerezebwa mu ngeri eyinza okubasazisaamu ebibuuzo byabwe oba okugobwa.
Okutuulira omuntu ebibuuzo ku luno kwakuleetera omuntu okusasula engassi ya bukadde 40 oba okusibwa emyaka 5 .
Abalondoola entambula y’ebigezo abagaba akasasi ,oba okuyambako amatendekero okukafuna , okukyusa obubonero, okubuza ebigezo, obutaloopa masomero geenyigidde mu kkopa baakuvunaanibwa.
Okukusanga ng’osaba abayizi ensimbi z’okwewandiisa okukola ebigezo bya UVTAB ezisukka ezo ezaagerekebwa , owa engassi ya bukadde 100 n’okusibwa emyaka 10 wamu n’okuddiza abayizi ensimbi zaabwe.
Oyesigye agamba okukuuma ekitiibwa ky’ekitongole mu bannansi essaawa eno kintu kikulu nnyo gye bali era sibeetegefu kukifiirwa .