ABASAJJA ababiri abaasooka okukkiriza emisango gy’okutega bbomu e Munyonyo ne ku Kaleerwe omwaka oguwedde beekyusizza ne babyegaana, ekitabudde kkooti y’amagye.
Hamza Lyavala ne Adil Walusansa baabadde beleeteddwa mu kkooti y’amagye e Makindye era ssentebe wa kkooti eno, Brig. Gen. Richard Tukacungura yabadde ateeseteese okubawa ekibonerezo kyokka munnamateeka waabwe, Maj. Simon Nsubuga Busagwa n’ategeeza kkooti nga Lyavala ne Walusansa bwe baawubisibwa okukkiriza emisango gino nti noolwekyo baasazeewo okwegaana emisango egyo.
Ssentebe wa kkooti yalemeddeko n’asaba beeyogerere era ne bakyeyogerera nti emisango bagyegaana. Kino kyawalirizza ssentebe wa kkooti okwongeraayo omusango guno okutuusa nga October 26, 2026 okuwa ensala ku kusaba kwabwe.
Wabula nga bino tebinnabaawo, Lyavala yasoose kuwa bujulizi ku mujaasi Lt.Col. Ephrahim Byaruhanga bwe bali ku misango gino, bwe yategeezezza nti yamukaka awaayirize eyali akulira CMI, Maj. Gen. James Birungi okubeera emabega w’okuvujjirira okutega bbomu zino enkolerere ng’emu yatulikira ku kiggwa ky’Abajulizi e Munyonyo ate endala n’etulikira ku Kaleerwe.
Lyavala ng’akunyizibwa Munnamateeka wa Byaruhanga, Frank Kanduho yagambye nti yatulugunyizibwa Brig. Gen Abdul Rugumayo okujwetekawo obujulizi ku Gen. Birungi.
Mu bumu ku bujulizi bwe yajwetekawo mulimu mwe yagambira nti Gen. Birungi yabasisinkana ng’amaze okuwaayo ofiisi eri Maj.Gen. Richard Otto n’abawa obukadde 10 okuvujjirira okukola bbomu zino wamu n’okwetaba mu kutta abakyala ababiri Sawiya Azatu ne Sumaya Byaruhanga abaafiira mu bbomu zino enkolerere.
Lyavala yagambye nti mu bujulizi bwe yasooka okuwandiika nga temuli w’alumiririza Gen. Birungi, Maj. Gen. Rugumayo yabuyuzaamu ye n’awandiika obulala mw’alumiririza Birungi.