Ssentebe wa NRM e Lubaga Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula addusiddwa mu ddwaaliro ng'embeera mbi oluvannyuma lw'okuddamu okufuna obulumi obw'amaanyi oluvannyuma lw'okulongoosebwa omugongo n'amagulu gyebuvuddeko.
Mu kiseera kino Majambere ali ku byuma ebimuyambako okussa olw'okufuna okukaluubirizibwa mu kussa ekitadde aba famire ye mu kutya.

Majembere ng'ali mu ddwaliro ku byuma
Agamba nti, Majambere yalongoosebwa omugongo n'okugulu mu June w'omwaka guno mu ggwanga lya Turkey gyeyamala omwezi mulamba ng'ajjanjabwa, oluvannyuma ne bakomawo kuno ku nkomerero ya July omwaka guno ng'embeera etereddemu.
Naye wiiki ewedde yazzeemu okutabuka ne bamuddusa mu ddwaaliro erimu wano mu Kampala gyebaamutadde ku byuma ebimuyambako okussa.
Ono agamba okusinziira ku mbeera gyalimu yeetaaga okuzzibwayo e Turkey gyebamulongooseza bongere okumwekenneenya nti naye ssente tebalina nga nezirabirira ewakaawe n'okuweerera abaana mu kiseera kino kifuuse kizibu.

Majembere ng'ali mu ddwaliro ku byuma
Bwatyo alajaanidde ssentebe w'ekibiina Kya NRM mu ggwanga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo abakwasizeeko ku bujjanjabi bw'omwana w'omulwanyi we.
Nakowoola Gen Salim Saleh, state house Controller Jane Barekye, Ssenga w'abaana Gen Proscovia Nalweyiso okuvaayo okubayambako Majambere asobole okujjanjabwa atereere.
N'abakulembeze ba NRM e Lubaga nga bakulembeddwa Richard Masaba Akulira eby'amawulire mu NRM e Lubaga nabo bawanjagidde abakulembeze b'ekibiina kya NRM mu ggwanga naddala ssentebe waabwe pulezidenti Museveni ne Gen. Salim Saleh okubayambako ku bujjanjabi bwa Ssentebe waabwe Ivan Majambere gwagambye nti, naye mwana weeyali omulwanyi omugenzi Majambere eyalwana okununula eggwanga lino.