Embeera y’okuddamu akalulu etabuse ku kyalo Lugoba III urban village omu ku bakyala abalonzi bw’agaaniddwa okuyingira ekifo awalonderwa n’akuba omuserikale wa Poliisi ejinja ku mumwa n’agwasa
Kitegeerekese nti abadde omu ku bakozi b’efujjo ababadde bagaaniddwa okuyingira nga talina ndangamuntu ab’oludda lwa munnakibiina ki NRM Musa Kimuli wabula olugambiddwa okuva ku kikomera w’abadde agezaako okuyingira n’akuba omuserikale ejjinja ku mumwa n’agwasa.