OMUBALIRIZI w'ebitabo agambibwa nti aludde nga yeeyita omuyambi wa RDC e Iganga n'anyaga ku bantu ssente, akwatiddwa poliisi.
Kitegeezeddwa nti abadde akubira abakozi amasimu naddala abo, be bali mu kunoonyerezaako ku mivuyo gy'okubulankanya ssente y'omuwi w'omusolo, nti ng'abasaba ssente wakati w’emitwalo 10 n’emitwalo 30 okubawonya ekkomera.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti baludde nga bamulinnya akagere okutuusa lw'akwatiddwa, era ng'aliko abawerako b'azze afera ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.