Amawulire

"Ekituufu baagala ki? " gwe muzannyo Bruno Betty gw'ategese ku La Bonita era abayise nga 24 October

Bruno Betty muzzukulu wa Mukuumandiga, ayongedde okukowoola abantu okugenda ku Theater LaBonita , bamuwagire mu muzannyo gw'ategese gwe yatuumye ' Ekituufu baagala ki?' 

"Ekituufu baagala ki? " gwe muzannyo Bruno Betty gw'ategese ku La Bonita era abayise nga 24 October
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Bruno Betty muzzukulu wa Mukuumandiga, ayongedde okukowoola abantu okugenda ku Theater LaBonita , bamuwagire mu muzannyo gw'ategese gwe yatuumye ' Ekituufu baagala ki?'

Omuzannyo guno, ogulimu abazannyi ab'enjawulo omuli Reign , Flavia Namulindwa n'abalala, gwakubaawo ennaku z'omwezi bbiri nga Oct 24 ne Oct 25 era okuyingira kwa 5  ne 10 n'obukadde 2 emmeeza.

Bruno

Bruno

Ku mukolo gw'okutongoza omuzannyo guno mu kizimbe kya CHINT ku Jinja road mu Kampala leero, Bruno Betty , agambye nti omuzannyo gujjudde ebinnonnogo era temusaanye kugusubwa.

Asiimye abo bonna abamuwagidde n'abamutaddemu ssente omuli aba, Bukedde, CHINT, Safarilink , Sumz, Bella Wine, Kalungi Motors, Crown Japan e Katwe, Ever light Real Estate, Bridal World , Kayongo Fashions,  n'abalala.

Bruno ng'ali ne Flavia Namulindwa nga naye agenda kuzannya, bagambye nti omuzannyo gwakubaleka nga temuli kye kimu.

Maneja wa Bukedde Fa Ma Embuutikizi Ronald Ssebutiko, atenderezza Bruno Betty olw'okukola obulungi emirimu era n'asaba abantu okugendayo mu bungi.

Abataddemu ssente n'abawagizi bagambye nti ebimu mu bye batunda ne bye basuubula, baakubisaloa ebbeeyi ku olwo.

Tags:
Amawulire
Bruno Betty
Theatre Labonita