Amawulire

Poliisi ekutte omu ku bateeberezebwa okutta abantu n'okubba ppiki e Mubende

OMU ku bantu abagambibwa okulumba ebyalo bisatu mu ggombolola y'e Kitenga e Mubende ne batta abantu 3  n'okulumya abawerako ne babba pikipiki, amasimu ne ssente, poliisi emukutte.

Poliisi ekutte omu ku bateeberezebwa okutta abantu n'okubba ppiki e Mubende
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMU ku bantu abagambibwa okulumba ebyalo bisatu mu ggombolola y'e Kitenga e Mubende ne batta abantu 3  n'okulumya abawerako ne babba pikipiki, amasimu ne ssente, poliisi emukutte.

Obulumbaganyi buno, bwabaddewo mu kiro ekyakeesezza olunaku lw'amefuga , abatemu bwe basse abafumbo okuli  Ivan Sserwanja 29 ne mukazi we eyabadde olubuto olukulu Rose Nakalanzi 26 ,ne babba ssente, amasimu ne pikipiki nnamba UFZ 589C Bajaj boxer.

Bano babadde basuubuzi ba mmwanyi ku kyalo ekyo. Ababbi era, baliko abafumbo ababiri n'abantu abalala be baalumizza nga babatemaatema n'okubabbako ebintu era bali mu malwaliro.

Nelson Nuwataho, y'akwatiddwa okuva e Ibanda era nga mu kiseera kino, atuusiddwa ku poliisi e Mubende okuyambako mu kunoonyereza ku misango omuli ettemu , okugezaako okutta n'okubbisa eryanyi.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti okumukwata , kiddiridde okunoonyereza okukoleddwa mu kitundu, nga kisuubirwa nti y'omu ku bali emabega w'ebikolwa bino.

Agumizza abatuuze mu kitundu nga bwe baliko abaserikale abalala 50 aba FFU, abaweerezeddwa okwegatta ku abo abaliyo aba poliisi n'amagye, okugenda mu maaso n'okulwanyisa ettemu n'ebikolwa ebikyamu.

Tags:
Mubende
Ttemu
Bantu
Amawulire
Poliisi