OMU ku bantu abagambibwa okulumba ebyalo bisatu mu ggombolola y'e Kitenga e Mubende ne batta abantu 3 n'okulumya abawerako ne babba pikipiki, amasimu ne ssente, poliisi emukutte.
Bano babadde basuubuzi ba mmwanyi ku kyalo ekyo. Ababbi era, baliko abafumbo ababiri n'abantu abalala be baalumizza nga babatemaatema n'okubabbako ebintu era bali mu malwaliro.
Nelson Nuwataho, y'akwatiddwa okuva e Ibanda era nga mu kiseera kino, atuusiddwa ku poliisi e Mubende okuyambako mu kunoonyereza ku misango omuli ettemu , okugezaako okutta n'okubbisa eryanyi.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, agambye nti okumukwata , kiddiridde okunoonyereza okukoleddwa mu kitundu, nga kisuubirwa nti y'omu ku bali emabega w'ebikolwa bino.
Agumizza abatuuze mu kitundu nga bwe baliko abaserikale abalala 50 aba FFU, abaweerezeddwa okwegatta ku abo abaliyo aba poliisi n'amagye, okugenda mu maaso n'okulwanyisa ettemu n'ebikolwa ebikyamu.