Amawulire

Abajaasi abatta ssemaka n'okutyoboola mukazi we kkooti ebasibye obulamu bwabwe bwonna

Kkooti ejulirwamu esindise mu kkomera abajaasi abaalumba amaka g’omutuuze ne bamutta oluvannyuma lw’okumunyaga, basibwe obulamu bwabwe bwonna bwe basigazza ku nsi.  Bano kuliko Private Okumu Okema Mark Alias Amari, Private Opiyo Lakony Oscar ne Benson Anywar.

Abajaasi abatta ssemaka n'okutyoboola mukazi we kkooti ebasibye obulamu bwabwe bwonna
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

Kkooti ejulirwamu esindise mu kkomera abajaasi abaalumba amaka g’omutuuze ne bamutta oluvannyuma lw’okumunyaga, basibwe obulamu bwabwe bwonna bwe basigazza ku nsi.  Bano kuliko Private Okumu Okema Mark Alias Amari, Private Opiyo Lakony Oscar ne Benson Anywar.

 

Abasatu abo baavunaanibwa wamu ne Joseph Oola Nelson Kilama, Christopher Luyer, Ismail Oryang eyeeyita  Latany, Michael Komakech amanyiddwa nga Onot  n’abalala abadduka nga bavunaanibwa emisango gye bazza nga November 29, 2008 ku kyalo Alii III mu disikiti y’e Amuru n’ettima ssaako ekigendererwa ekirowoozeddwako batta George Okema  ne bamunyaga ssente emitwalo 105,000/= ssaako essimu ye nga bakozesa amaanyi g’ekissi.

Kkooti enkulu eyasalidde abaserikale omusango.

Kkooti enkulu eyasalidde abaserikale omusango.

Bano bonna okutta Okema baasooka kujja mu maaka ge ekiro ne bamutegeeza nti eggaali kwe baali batambuliza ebintu byabwe yali efudde olwo n ebamusaba agibateerekereko n’ebintu ebyo, nti bajja kudda babinone.

 

Kyokka Okema yali ne mukyala we baali bakyawuliriza , abatemu bano ne bakuba oluggi ne bayingira ennyumba ne balagira mukyala we okweyambula ne bamulinyirira yenna n’okumusamba mu bitundu by’ekyama ate Otema ne bamwebasa wansi ne bamusogga effumu mu mugongo nga bwe babakanda ssente obukadde 10 bwe baabategeeza nti tebazirina kwe kukuliita n’ezaaliwo ,essimu,engoye, kateni n;ebintu by’omu nju ebirala.

 

Abatemu bano era baasitula Otema ne bagenda naye ng’omulambo gwe gwazuulibwa oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga guvundira mu nsiko.

 

Mu kkooti abatemu bano beegaana emisango era ne bawozesebwa kkooti ne gibasinga olwo ne basalirwa kusibwa obulamu bwabwe bwonna.

 

Kyokka baajulira nga bagamba kkooti yabawa ekibonerezo ekikakali ,ng’ate gwe gwali omulundi gwabwe ogusoose okuzza emisango, balina ffamire n’abaana abato abeetaaga okulabirira.

 

Abalamuzi ba kkooti ejulirwamu basatu okuli Eva Luswata, Dr. Asa Mugenyi, ne Musa Ssekaana mu nsala yaabwe baagambye nti bwe beekenneenyezza okusaba kwa bano n’ensonga z’oludda oluwaabi ssaako ensala y’omulamuzi , abatemu bano ekibonerezo kibagwanidde awatali bwetaavu bwonna okukendeezaako olw’engeri gye bazzaamu emisango ne batta omuntu gwe baasanga mu maka ge ate ne bagattako n’okutyoboola mukyala we n’okubba ebintu.

 

Kkooti bw’etyo ekkiriziganyizza ne kkooti eyasooka okubasalira n’eragira basibwe obulamu bwabwe bwonna.

Tags:
Twed towers
Kkooti
Kusiba
Bajaasi