SSENTEBE w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya alaze obutali bumativu olwa gavumenti okutondawo akakiiko k’eddembe ly’obuntu akalala mu lukiiko lwa baminisita, mu kifo ky’okunyweza akakiiko k’akulembera kubanga ke kaateekebwawo mu mateeka, ate tekalina kyekubiira.

Amyuka Ssaabalamuzi Richard Buteera (wakati) ng'ali n'abakungu b'akakiiko k'eddembe ly'obuntu. Simeo Nsubuga (ku ddyo), Col. Stephen Basaliza ne Shifrah Lukwago. Okuva ku kkono, Crispin Kaheru, Omara Apitta ne Mariam Wangadya Ssentebe w'akakiiko k'eddembe ly'obuntu.
Gubadde ku kizimbe kya Twed Towers ekisangibwa e Nakasero mu Kampala. Abalayidde kubaddeko Simeo Nsubuga eyali omubaka wa Kassanda South, Col. Stephen Basaliza ne Omara Apitta.
Wangadya agamba nti akakiiko k’akulembera kaateekebwawo Ssemateeka ate kalina abantu abakugu mu by’amateeka n’eddembe ly’obuntu naye ekibalemesa okukola ze ssente entono ezibaweebwa.
Agamba ekyandibadde kikolebwa kwe kunyweza akakiiko k’eddembe ly’obuntu nga bakawa ssente ezimala okutambula mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bakola okunoonyereza kw’ossa okuwulira emisango gy’abantu ga ssematteeka bw’abawa obuyinza.
Agamba nti kino kisingako okutondawo obukiiko obungi naye nga bwonna tebulina mbavu zikola mirimu mu butuufu bwagyo.
Kinajjukirwa nti nga October 31,2022, olukiiko lwa Baminsita lwayisa ekiteeso eky’okuteekawo akakiiko k’eddembe ly’obuntu era Minisita w’ebyamateeka Nobert Mao n’alonda abantu Mwenda abatuula ku kakiiko kano nga ye ssentebe waako.
Omulimu gwako omukulu gwakulondoola n’okulwanyisa ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Bo bakamiisona abalayidde beeyamye nga bwe bagenda okufuba okulaba nga boogerezeganya n’ebitongole ebikuumaddembe bisobole okwekolamu omulimu beegobeko abantu abakozesa obubi amaanyi n’obuyinza bwabwe okutulugunya abantu ekiwa ekifaananyi ekibi eri gavumenti mu bantu.