Bino abyogedde oluvavnyuma lw’okukuba ebirayiro nga kaminsona ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu mu ggwanga ku mukolo ogubadde ku Twed Towers e Nakasero mu Kampala.
Nsubuga agamba nti ebimu ku byasookerako oluvannyuma lw’okulayira nga kaminsona ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu kwe kulaba ng’akakiiko kasisinkana ebitongole by’ebyokwerinda byonna boogerezeganye ku nsonga z’okutulugunya abantu abakwatibwa ku misango egy’enjawulo, okusiba abantu okusukka essaawa 48 eziragiddwa mu mateeka, okulemesa abasibe okulaba ab’oluganda baabwe, balooya n’abasawo.

Simeo Nsubuga (ow'okubiri okuva ku ddyo) ne Famire ye nga bali ne Richard Buteera (ali mu galubindi) amyuka Ssaabalamuzi wa Uganda oluvanyuma lwa Nsubuga okukuba ebirayiro nga kaminsona ku kakiiko k'eddembe ly'obuntu.
Ayongerako nti alina essuubi nti ensinsinkano zino zaakuvaamu ebibala kubanga abakuumaddembe abakola ebikolwa bino babikola ku lwabwe ng’abantu olw’obutamanya ddembe lya buntu, oluusi n’okukyamuukirira nga kyetaagisa okwogera nabo okulaba nga ebikolwa bino bikoma.
Nsubuga era agamba nti Poliisi ye yandibadde ekwata abantu abateeberezebwa okuzza emisango, olwo n’ebakwasa ebitongole ebirala bwe biba bibeetaaze ng’emaze okutegeeza ab’oluganda kitongole ki ekirina omuntu waabwe.
Akakiiko k’eddembe ly’obuntu kalina obuyinza okuwozesa emisango egyekuusa ku kutyoboola eddembe ly’obuntu n’okuyambako abatyobooleddwa eddembe lyabwe okulaba nga bafuna obwenkanya ku poliisi ne mu kkooti.
Mu kiseera kino kakulirwa Mariam Wangadya.