SSEMAKA abadde yaakawangula omusango gw’ettaka mu kkooti ku Twed Tower attiddwa mu bukambwe bw’abadde agenze okuliteekako ssengenge.
Ekyekango kino kibadde mu bitundu by’e Namasuba Kikajjo wabula nga omugenzi Edward Ssewankambo abadde mutuuze ku kyalo Busikiri ekisangibwa e Jagala mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaalu y’e Nansana municipality nga ettaka lyabadde akayanira lili Namasuba kikajjo era gyebamutidde.
Omugenzi Ssewakambo abadde agugulana ne kitaawe we omuto Francis Lukwago nga omusango guno gwatandika mu February w’omwaka guno kyokka nga Lukwango ye yawawaabira Sewankambo nga amuvunaana okwagala okutwala ettaka lye.
Omwezi oguwedde, omulamuzi Christine Kaahwa owa kkooti enkulu yagusala oluvannyuma lwa Lukwago okulemererwa okuleeta obujulizi era wano bwe yagenze okusiba ettaka lye ssengenge we baamutidde nga bakozesa amayinja n’emiggo.
Bo abatuuze b’omu kikajjo bawanjagidde omuduumizi wa poliisi okubataasa ku poliisi y’omu kikajjo gye bagambye nti y’ereese emivuyo ku ttaka lino era ne balumiriza nti byonna ebyabadde bigenda mu maaso OC w’e Namasuba Kikajjo abimanyiiko
Omugenzi aziikiddwa ku kyalo Busikiri ku luguudo lw’e Semuto. Omusumba w’e Kalasa, Moses Kasule avumiridde ettemu erisusse ennyo mu ggwanga n’asaba abantu okudda eri Katonda.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala agambye nti polisi eriko abantu b’ekutte ku ttemu lino naye ng’omutwe omukulu gwe bateebereza, Lukwago akwatiddwa abayambeko mu kunoonyereza.