Amawulire

Omumyuka wa Ssaabalamuzi awadde amagezi akakiiko ka PDDA ku kulwanyisaamu enguzi

OMUMYUKA wa Ssaabalamuzi wa Uganda Richard Buteera awadde amagezi ab’akakiiko akavunaanyizibwa ku kugula n'okugaba emirimu ku Pulojekiti za gavumenti aka Public Procurement and Disposal of Public Assets Authority (PPDA) ku ngeri gye bayinza okulwanyisa nguzi .

Omumyuka wa Ssabalamuzi Richard Buteera, wakati, ng'ayogeramu ne Keto Kayemba (ku ddyo) oluvanyuma lw’okulayizibwa nga mmemba ku kakiiko ka PPDA Tribunal.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Bya Edward Luyimbaazi

OMUMYUKA wa Ssaabalamuzi wa Uganda Richard Buteera awadde amagezi ab’akakiiko akavunaanyizibwa ku kugula n'okugaba emirimu ku Pulojekiti za gavumenti aka Public Procurement and Disposal of Public Assets Authority (PPDA) ku ngeri gye bayinza okulwanyisa nguzi .

 Okwogera ebyo abadde ku mukolo ku kkooti ya Twed Towers kwe yalayiriza Keto Kayemba ng’omu ku bammemba ba kakiiko ka Public Procurement and Disposal of Public Assets Tribunal nga kano kawuliriza okwemulugunya ku bitongole n’abantu ababeera baweereddwa okukola emirimu ku pulojekiti za gavumenti.

 Buteera ategeezezza nti singa ebintu bya gavumenti bigulibwa n’emirimu mu pulojekiti za gavumenti ne gigabibwa bulungi kiyambako okukendeeza ku buli bw’enguzi mu ggwanga.

Buteera agamba nti akakiiko kano kayambyeko kukukendeeza ku misango egikandaalirira mu kkooti kubanga gy ebanditutte mu kkooti basalawo okugisindika mu kakiiko kano ne bayambibwako okugigonjoola mu bwenkanya.

Ate ssentebe wa kakiiko kano, aka PPDA Tribunal Francis Gimara, ategeezezza nti bwe bafuna okwemulugunya okuva mu bitongole n’abantu ababeera baweereddwa emirimu ku pulojekiti za gavumenti bagikolako mu nnaku 15 era kiyambako akakiiko ka PPDA okweyongeraayo okukola obulungi emirimu gyabwe.

Gimara yagambye nti omwaka oguwedde baasobode okuwulira emisango 45 era ne basobola  okutaasa obuwumbi 625 obutayonoonebwa era tewali musango gwonna gukyakandaaliridde mu kakiiko kaabwe.

Kayemba asuubiza okukola obulungi obuvunaanyizibwa obumuweereddwa.

 

Tags:
Omumyuka wa Ssaabalamuzi
PDDA
okulwanyisa
enguzi