KKOOTI etaputa Ssemateeka egaanye okusazaamu etteeka eriwera omukwano gw’ekikula ekimu, kyokka n’esazaamu obuwaayiro mwe babadde bavunaanira nnannyini kifo omunaasangibwa nga bakoleramu ebikolwa by’omukwano gw’ekikula ekimu.
Mu nsala y’abalamuzi abataano eyasomeddwa omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Buteera eggulo, obuwaayiro okuli; 3(2)(c), 9, 11(2)(d) ne 14 obw’etteeka lya Anti-Homosexuality Act, 2023 bwasaziddwaamu olw’okukontana ne Ssemateeka afuga eggwanga owa 1995.
Obuwaayiro obwasaziddwaamu bubadde bugufuula musango eri nnannyini kifo ekisangibwamu abantu nga beenyigidde mu mukwano gw’ekikula ekimu. Nnannyini kifo avunaanibwa singa alemwa okutegeeza poliisi.
Etteeka era libadde livunaana omuntu yenna singa abeera yeenyigidde mu mukwano gw’ekikula ekimu n’omulala ne yeesanga ng’amusiize obulwadde obutawona era obusobola okuviirako omuntu okufa.
Abantu ab’enjawulo abaakulemberwa Fox Odoi (West Budama), Andrew Mwenda n’abalala 20 be baawawaabira Ssaabawolereza wa Gavumenti n’abalala nga bawakanya etteeka erikugira obufumbo bw’ekikula ekimu eryayisibwa Palamenti erya Anti-Homosexuality Act, 2023.
Oluvannyuma lwa Pulezidenti okussa omukono ku tteeka lino nga May 26, 2023 ku lunaku lwennyini emisango ena gyaloopebwa abantu 22 gattako n’ebibiina ebirwanirira eddembe ly’obuntu nga bawakanya obuwaayiro 17 mu tteeka bwe bagamba nti bulinnyirira eddembe eribaweebwa Ssemateeka.
Kyokka okusaba kwabwe kwawakanyizibwa Ssaabawolereza wa Uganda, Paasita Martin Sempa, Eng. Stephen Langa, ekitongole kya Family Life Network Limited n’ekitebe kya Joint United Nations Programme on HIV/ AIDS (UNAIDS).