Bruno Betty muzzukulu wa Mukuumandiga, ayongedde okukowoola abantu okugenda ku Theater LaBonita , bamuwagire mu muzannyo gw'ategese gwe yatuumye ' Ekituufu baagala ki?'

Bruno
Ku mukolo gw'okutongoza omuzannyo guno mu kizimbe kya CHINT ku Jinja road mu Kampala leero, Bruno Betty , agambye nti omuzannyo gujjudde ebinnonnogo era temusaanye kugusubwa.
Asiimye abo bonna abamuwagidde n'abamutaddemu ssente omuli aba, Bukedde, CHINT, Safarilink , Sumz, Bella Wine, Kalungi Motors, Crown Japan e Katwe, Ever light Real Estate, Bridal World , Kayongo Fashions, n'abalala.
Bruno ng'ali ne Flavia Namulindwa nga naye agenda kuzannya, bagambye nti omuzannyo gwakubaleka nga temuli kye kimu.
Maneja wa Bukedde Fa Ma Embuutikizi Ronald Ssebutiko, atenderezza Bruno Betty olw'okukola obulungi emirimu era n'asaba abantu okugendayo mu bungi.
Abataddemu ssente n'abawagizi bagambye nti ebimu mu bye batunda ne bye basuubula, baakubisaloa ebbeeyi ku olwo.