Amawulire

Kabaka awangudde omusango gw’etteeka eryazzaawo Obwakabaka

Kabaka awangudde omusango gw’etteeka eryazzaawo Obwakabaka

Bannamateeka b’Obwakabaka mu ssanyu. Ku ddyo ye Denis Bugaya, Usaama Sebuufu, Daniel Ssenyomo, Edris Mukwaya ne Ronald Matovu, akolera mu Buganda Royal Law Chambers.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKOOTI etaputa Ssemateeka eyongedde okukakasa nti etteeka eryazzaawo Obwakabaka n’ebyabwo liri mu mateeka ng’era ebintu byonna ebyaddizibwa Kabaka byakolebwa mu mateeka.
Abalamuzi abaakulembeddwaamu Omumyuka wa Ssaabalamuzi Richard Butera, Catherine Bamugemereire, Mutangula Kibeedi, Irene Mulyagonja, Oscar Kihika be banywezezza etteeka lino eryakolebwa mu 1993 mu lutuula olwabaddewo ku Lwokusatu.

Kyaddiridde Omulangira Kalemera Harold Kimera, mutabani w’Omulangira Harold Kagolo Kimera era muzzukulu wa Ssekabaka Daudi Chwa ll okugenda mu kkooti mu 2000 ng’agisaba erangirire etteeka eryo nti teririiwo kuba lyakolebwa mu bukyamu.
Mu kuwaaba omusango, Omulangira Kalemera yeesigama ku buwaayiro 137 (3), 50 ne 2 (2) obwa Ssemateeka wa Uganda n’agamba nti obutundu obumu mu tteeka eryazzaawo Obwakabaka, bulina obuwaayiro obukontana ne Ssemateeka w’eggwanga nga bumuggyako eddembe lye ery’okusikira ebyobugagga bya bakadde be, bwe liwa Obwakabaka ebintu ebyo.
Bwe yabadde ayogera ku nsala eno ku Lwokuna e Bulange - Mmengo, Ssaabawolereza wa Buganda, Christopher Bwanika yategeezezza ng’ensala eno bw’emazeewo eggoye lyonna ku misango egibadde giwawaabirwa Obwakabaka nga gyesigamizibwa ku tteeka lino.
Bwanika yategeezezza nti Obwakabaka bugoberera amateeka mu buli kye bukola era ebintu byonna ebyabuddizibwa, birabirirwa n’okutambulizibwa mu mateeka n’alaga essanyu nti kkooti ya Ssemateeka ekakasizza kino era ne yeebaza abalamuzi okulamula mu bwenkanya.
KALEMERA SASULA KABAKA - KKOOTI
Kkooti yalagidde Kalemera okusasula Kabaka olw’ebiseera n’ensimbi ebiteereddwa mu musango guno saako ne Ssaabawolereza wa Uganda be yawawaabira.
“Nsaba lino libeere essomo eri bonna abali eyo nga bategeka emisango okugiwawaabira Obwakabaka. Tetugenda kutuula wabula okugenda mu maaso n’okuggya ensimbi kkooti z’eragidde ku Mulangira Kalemera oboolyawo anaayiga nti emisango gino egirabikirawo gyonoonera Kabaka obudde n’ensimbi ng’ate alina bingi eby’okukolera abantu be,” Bwanika bwe yategeezezza.
Kabaka abadde ne ttiimu ya bannamateeka kabiriiti okuli aba Buganda Royal Law Chambers, Buganda Land Board ate n’aba K&K Advocates nga bonna baweze okugenda mu maaso n’okulwanirira Obwakabaka.
Usaama Ssebuufu, munnamateeka okuva mu K&K Advocates yagambye nti Kalemera yabuulira kkooti ekintu ekisesa nti ebintu ng’ennyanja ya Kabaka, olubiri lw’e Bumera - Busiro n’ebirala nti byabwe era n’asaba bamuliyirire ensimbi za doola obukadde 60.
Denis Bugaya nga munnamateeka wa Buganda Land Board yategeezezza nti balina emisango egiri eyo mu 100 gyonna nga giwaabwa abantu abalowooza nti basobola okufuna ensimbi okuva mu Bwakabaka n’agamba nti kino tebajja kukikkiriza.
“Ebintu ebyaddizibwa Obwakabaka naddala ettaka lirabirirwa Buganda Land Board. Ebiriwo mu mateeka ate bannaffe abo naddala aba ‘estate’ ya Ssekabaka Chwa ll basaanye okukimanya nti byonna bye tulabirira bye biri mu mikono gy’Obwakabaka, ebibye ng’omuntu ebyo tebiri naffe,” Bugaya bwe yategeezezza.
Obwakabaka bwa Buganda bwaggyibwawo mu 1966 era gavumenti eya wakati n’ewamba nti ebintu byabwo byonna. Nga buzzibwawo mu 1993, etteeka eribuzzaawo lyakolebwa. Etteeka lino era lyazingiramu obukulembeze obw’ennono obulala bwonna mu Uganda

Tags: