Amawulire

Kkooti esaze eggoye mu musango gw’ettaka lya yiika 131 ogumaze emyaka 12

KKOOTI esaze eggoye ku musango gw’ettaka lya ffamire ogumaze emyaka 12, abaawaaba ne beewera okujulira.

Abaana b’omugenzi Ausi Matovu nga boogera ku ttaka ly’omugenzi ery’e Lutembe.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KKOOTI esaze eggoye ku musango gw’ettaka lya ffamire ogumaze emyaka 12, abaawaaba ne beewera okujulira.
Ettaka erikaayanirwa lya yiika 131 nga lisangibwa Busiro ku Block 397 plot 126 ne 185 e Bweya mu Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso nga lyali lya mugenzi Ausi Matovu.

Omusango gwasaliddwa omulamuzi Immaculate Busingye Byaruhanga owa kkooti etawulula ensonga z’ettaka ku Twed Towers mu Kampala. Yasaze nti ettaka lino lyatundibwa Mohammed Seguya omu ku batabani ba Matovu era nga yali omu ku baaweebwa obuyinza okuddukanya emmaali y’omugenzi.
Seguya ng’ali ne mutabani we Isma Lubega baddukira mu kkooti mu 2012 nga bawawaabira munnamateeka Deox Tibeingana olw’okutunda ettaka lino mu bukyamu.
Mu mpaaba baagamba nti, Tibeingana baamusaba okubayamba okuggya liizi ku poloti nnamba 185 block 397 okutudde Lutembe Beach zitundibwe, ssente zigabanyizibwe mu bamulekwa bonna.
Baagamba nti wabula mu kifo ky’okuggya liizi ku ttaka lino Tibeingana yakozesa olukujjukujju n’ava ku ndagaano n’asalamu poloti okuli; 708/709, 710, 722, 723, 724, 725, 726 ne 727 n’azitunda mu bukyamu.
Seguya yatwala Tibeingana mu kkooti n’amuwawaabira n’abantu abalala musanvu abaagula ku ttaka lino okuli; Isma Lubega, Moses Muwonge, Vincent Seguya, Lucy Luyinza, Sarah Muganga ne John Mutebi kyokka omulamuzi yazudde nti Isma Lubega (mutabani wa Abud Muwonge), Moses Muwonge, Vincent Seguya, Moses Kamoga ne Lucy Luyinza.
Omulamuzi bwe yabadde awa ensala ye yategeezezza nti abaagula ettaka lino tebaasooka kukola kunoonyereza n’alagira ebyapa byabwe bisazibwemu kubanga baagula mu bukyamu.
Yagambye nti ku baagula ku ttaka lino babiri bokka okuli; Sarah Muganga ne John Mutebi be basobola okuliyirirwa kubanga baagula nga bayita mu Tibeingana. Omulamuzi yasaze nti Seguya bye baakola byali bya kifere, n’agoba okusaba kwe yali yassaayo ng’ayagala omulamuzi okukkiriza nti Tibeingana n’abalala abaagula ku ttaka lino baakikola mu bukyamu. Omulamuzi yagambye nti Seguya yategeeza kkooti nti
baganda be baatuula ne bamuwaettaka lino, wabula yalemwa okulaga obujulizi obukakasa kino. Seguya yagambye nti teyamatidde na nsala ya kkooti n’agamba nti agenda kujulira. Bino we bijjidde ng’abamu ku baana b’omugenzi Ausi Matovu okuli; Madiina Namatovu, Aidah Nansamba ne Hamis Iga baddukira mu kkooti enkulu etawulira ensonga z’amaka e Makindye nga bagamba nti ettaka lya kitaabwe lyagabanyizibwa bubi ne litundibwa eri abantu ab’enjawulo mu bukyamu.

Tags: