Bya Edward Luyimbaazi
ABAFFAMIRE ya Temiteo Balyokwabwe e Bweyogere-Buto mu munispaali y’e Kira e Wakiso bali mu kusattira nga bagamba nti omugagga Frankline Ssali ayagala okubagoba ku kibanja kyabwe kye bamaze emyaka egisoba mu 50.

Abaffamire Ya Temiteo Balyokwabwe E Bweyogerere Nga Bava Mu Kkooti Ku Twed Towers .
Omusango guno guli mu maaso g’omulamuzi Flavia Nassuna Matovu owa kkooti y’eby’ettaka era yatandise okuguwulira.
Wabula Walusansa ne nnyuna Bbira Wanyana bawakanya Ssali by’abavunaana nga bagamba nti kino ekibanja kyali kya jjaajabwe Temiteo Balyokwabwe nga lyaliko obunene bwa yiika 3 ng’ono ye yaliwa kitaabwe Stephene Musamya mu 1954.
Walusansa agamba nti Taata we Musamya eyafa mu 1997 nga Walusansa ye yamusikira nga bwatyo ku ttaka lino talisaalimbirako, Ssali ayagala kubasengula ku kibanja kyabwe.
Omulamuzi Nassuna olumaze okuwulira endowooza okuva ku njuyi zombi alagidde omusango guno guwulirwe nga May,05, 2023 ne May,12, 2023.