OMUVUBUKA agambibwa okusangibwa n'embuzi ssatu enzibe, akwatiddwa poliisi e Rubanda.
Tomothy Akanyijuka 18, omutuuze w'e Hamuhambo Town Council e Rubanda, y'akwatiddwa ku bigambibwa nti bamusanze atambuza embuzi zino, nga talina kiwandiiko kyonna ne kivaako okumwekengera.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime, asabye oyo yenna ayinza okuba nga yabbiddwako embuzi, okugenda ku poliisi e Rubanda.