OMUWALA Faima Wandera eyabba ssente n’ebintu bya bba akomyewo ku kkooti n’agasimbagana ne bba Marvin Wasswa gwe yabba.

Wasswa (eyeebisse masiki) mu kkoooti ne Wandera (ayimiridde mu ssaati eya bbulu)
Wasswa alemeddeko n’ategeeza nti ye ayagala ssente ze obukadde 2 n’emitwalo 35 ze yamubba n’akasimu ssaako eby’omu nju bye yakuuliita nabyo era bw’alemwa agende alimire gavumenti.
Omulamuzi Nicholas Aisu abagambye bateese bazzeewo omukwano gwabwe naye Wasswa akombye ku erima. Wandera bamuwadde okutuusa wiiki ejja asasule ssente nti bw’alemwa bamusalire ogwokusibwa mu kkomera. Azziddwa e Luzira okutuusa nga October 22,2026.