Amawulire

"Njagala ssente zange oba si kyo yingira ekkomera” Bba w’omuwala eyabba ssente n’adduka akombye kwerima!

OMUWALA Faima Wandera eyabba ssente n’ebintu bya bba akomyewo ku kkooti n’agasimbagana ne bba  Marvin Wasswa gwe yabba.

"Njagala ssente zange oba si kyo yingira ekkomera” Bba w’omuwala eyabba ssente n’adduka akombye kwerima!
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

OMUWALA Faima Wandera eyabba ssente n’ebintu bya bba akomyewo ku kkooti n’agasimbagana ne bba  Marvin Wasswa gwe yabba.

Wasswa (eyeebisse masiki) mu kkoooti ne Wandera (ayimiridde mu ssaati eya bbulu)

Wasswa (eyeebisse masiki) mu kkoooti ne Wandera (ayimiridde mu ssaati eya bbulu)

Wandera akatemye Wasswa nti ali lubuto atenga  lulwe kyokka omusajja agambye bamala kumukebera okukakasa ebyo.

Wasswa alemeddeko n’ategeeza nti ye ayagala ssente ze obukadde 2 n’emitwalo 35 ze yamubba n’akasimu ssaako eby’omu nju bye yakuuliita nabyo era bw’alemwa agende alimire gavumenti.

Omulamuzi Nicholas Aisu abagambye bateese bazzeewo omukwano gwabwe naye Wasswa akombye ku erima. Wandera bamuwadde okutuusa wiiki ejja asasule ssente nti bw’alemwa bamusalire ogwokusibwa mu kkomera. Azziddwa e Luzira okutuusa nga October 22,2026.

Tags:
Amawulire
Kubba
Ssente
Kuyingira
Kkomera
Muwala