OMUSAJJA omusuubuzi agambibwa okulimba poliisi ng'abazigu bwe bamunyazeeko ensimbi 4,700,000/-, poliisi emukutte ne banne abalala babiri.

Waiswa gwe baakutte.
Bino byabaddewo nga October 18 ng'ono atambulira mu Isuzu Elf nnamba UA 717BN bwe yalimbye nti abasajja bana nga batambulira mu mmotoka ekika kya RAV 4 baamufumbikirizza ne bamunyagako ssente ezo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, annyonnyodde nti baakoze okunoonyereza nga beeyambisa ne kkamera za CCTV era nti emmotoka eyogerwako tebaagirabyeko ng'eyita mu bitundu ebyo e Iganga.

Omulala gwe baamukutte naye.
Era baakizudde nti emmotoka eyogerwako n'obudde obwo ,yabadde mu kitundu ky’e Busei Nakalama kwe kumukunya n'ayogera amazima nti bwabadde bulimba olw'obutakkaanya bwe yabadde nabwo ne babbulooka ku ssente akakadde kamu n’emitwalo 40 ze baabadde balina okugabana ku mmotoka gye baatunze.