Amawulire

Omusajja agambibwa okusala waya z'amasannyalaze ng'azibba, amasannyalaze gamukubye ne bamutwala mu ddwaaliro ng'azirise.

Omusajja agambibwa okusala waya z'amasannyalaze ng'azibba, amasannyalaze gamukubye ne bamutwala mu ddwaaliro ng'azirise. 

Waya ezikubye omuntu
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusajja agambibwa okusala waya z'amasannyalaze ng'azibba, amasannyalaze gamukubye ne bamutwala mu ddwaaliro ng'azirise. 

Bibadde ku kyalo Tebalyala mu muluka gw'e Bweyeyo e Luweero, amasannyalaze bwe gakubye omusajja ateegerekeseeko erya Musisi Kwizera n'asigala ng'ataawa. 

Ono alabiddwa abatuuze ng'agudde wansi ne magalo ng'eri ku lubuto lwe, kwe kutemya ku ssentebe wa LC 1 , naye ayise poliisi n'emutwala mu ddwaaliro e Luweero, okusooka okufuna obujanjabi. 

Wansi w'abadde, abasirikale basanzeewo waya eziweza mita nga 100, pikipiki Bajaaj Boxer okutali nnamba, essimu ye, magalo era nga muganda we Moses Sande poliisi naye emukutte. 

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twiineamazima, agambye nti okunoonyereza, kugenda mu maaso.

Tags: