Amawulire

Ebintu ebyangu ebisanyusa omukozi n’akukolera bulungi

ENNAKU zino nneesibye ku bakozi, kubanga nkimanyi nti, bano bwe bakwatibwa obulungi basitula bizinensi ate bwe bakwatibwa obubi, battira ddala bizinensi.

MICHAEL M.SSEBOWA mssebowa@newvision.co.ug
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ENNAKU zino nneesibye ku bakozi, kubanga nkimanyi nti, bano bwe bakwatibwa obulungi basitula bizinensi ate bwe bakwatibwa obubi, battira ddala bizinensi.
Saagala kutegeerekeka bubi, bwe nkugamba nti, bakozi balina okukwatibwa obulungi sitegeeza kubakwasa oba kubakola kyejo, nedda era bw’obakola ekyejo okwo tetukuyita kubakwata bulungi wabula ku bakwata bubi. Kye ntegeeza kwe kukola byonna ebyetaagisa okulaba ng’omukozi omuggyamu omulimu ogwo gwennyini, oba n’okusinga ku gwe wali omusuubiramu.

Jjukira nti, mu muko guno si wandiikira muntu alowooleza mu buntu butono, nedda, nze mpandiikira omuntu ayagala okukola eby’amaanyi wadde  ng’atandise n’akatono. Kino
kitegeeza nti, wadde oli mu ka bizinensi akalabika ng’akatono mu kiseera kino, olina ekirowoozo eky’okugejja.
Mu kiseera kino olw’okuba oli mutono mu sayizi ya bizinensi ebintu ebisinga obyekolera, wadde era ng’olinayo abakuyambako oba b’okolagana nabo, ekiseera kijja kutuuka ng’oteekwa buteekwa okufuna abakuyambako. Ate mu ngeri y’emu ne bw’oba mutono kikulu nnyo okutandikirawo okukola ebyo ebikolebwa abanene ogende okugejja
ng’ebiteekeddwa okukolebwa wabiyiga dda era watandika dda okubissa mu nkola.
Olwaleero njagadde tutunule ku nsonga oba ku bukodyo obwangu omukozesa oba
muyite nnyini bizinensi bw’ayinza okukozesa okusanyusa abakozi ne bakola obuteebalira. Jjukira omukozi omusanyufu essanyu eryo alituusa ku bakasitoma, ate
kasitoma bw’asanyuka olwo muba muli mu kintu. Abakugu aba Forbes batuwa bino wammanga okusobola okusanyusa omukozi nga tokozesezza ssente:
 Okusiima : Bino ebintu biwulikika ng’ebitono, kyokka binene nnyo mu matu g’abakozi. Ate ekirala bangi tubimanyi naye tetubissa mu nkola. Mukamaawo okukusanga n’akwebaza omulimu gwe wakoze, si kitono. Abantu abasinga bambi akola omulimu okumala ebbanga naye nga tamanyi oba ddala mukamaawe agutwala ng’ensonga. Kino bwe kibaawo akinyumizaako ne banne.
 Okusiimira mu bantu : Wali, wamwebazizza n’asanyuka nnyo era n’akinyumizaako
banne. Kyokka banne bayinza obutabikkiriza, wabula bw’okikola nga bonna bawulira,
omukozi essanyu limubugaana ate n’aba nga teyeetaaga kunnyonnyola banne. Kino nno tekikoma ku kusanyusa ono yekka kyokka kyongera amaanyi mu balala nabo abandyagadde okusiimibwa mu lujjudde.
 Kiteeke mu buwandiike : Kituufu wamusiimye ng’omusanze akoze ekitali kya bulijjo, era n’omusiimira mu lujjudde, kyokka era kikulu okusiima kuno okukussa mu buwandiike. Kino kibanga kijjukizo eri omukozi era asobola n’okukiragako abalala
abataabaddeewo, kyokka era kyongera okulaga nti, mukamaawe yatutte obudde okulowooza ku by’akola era n’akissa mu buwandiike. Mu nkola ey’omulembe ebbaluwa eno esiima essibwa mu fayiro y’omukozi ate n’omukozi asobola okugyeyambisa mu maaso eyo, okugeza bw’aba anoonya omulimu.
 Mutimbe buli muntu w’amulabira : Mu bitongole e kkampuni ennene, balina
enkola y’okulonda omukozi w’omwezi ate n’oluvannyuma omukozi w’omwaka. Abakozi bano abasinze bannaabwe, akubwa ebifaananyi ne bitimbibwa mu bifo bakozi
bannaabwe n’abagenyi we basobola okubalabira obulungi. Omukozi afunye kino kiyinza n’okumulemesa okuva mu kkampuni eyo kubanga awulira nga ddala agirinako akakwate
kanene.
 Wa abakozi omukisa okuwa ebirowoozo : Abakozi okufaananako n’abantu abalala baagala nnyo okuwulirizibwa era baagala nnyo okulabika nti, beenyigira mu bigenda mu maaso. N’olwekyo kikulu okubawa omukisaokuwulirizibwa ate era kikola kinene nnyo gyebali okulaba ng’ebirowoozo byabwe bissibwa mu nkola. Mu mbeera eno bongera okuwulira nti, batwalibwa nti, ba mugaso eri kkampuni era baba beetegefu okukola ebyo ebyakkaanyiziddwaako naddala nga byavudde mu bo bennyini. Ka tukome wano leero, ate kwe tunaayongereza wiiki ejja, Omukama bw’anaaba akkirizza.

Tags: