EYALI omubaka wa Busiro South, Charles Matovu afudde mu bwangu oluvannyuma lw’okugwirwa ekirwadde ne bamuddusa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Abakungubazi Nga Babuuza Ku Nnamwandu (ataddeko Masiki) Ne Bamulekwa Ba Matovu
Godfrey Ssaazi (Gomba East) abadde mukoddomi w’omugenzi yagambye nti Matovu yagwira obulwadde obw’amangu nga yeebase ku Lwokuna n’atandika okussa obubi ng’omukka abaka mubake.
Mu kiseera kitono nnyo, Matovu yalekeraawo okwogera n’amaaso ne gaziba kwe kusalawo okumuddusa mu ddwaaliro e Lubaga.
“Embeera bwe yagaanye okutereera, nga ffamire twasazeewo okumwongerayo mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, eby’embi n’afa nga twakatuuka ku ssaawa 2:00 ez’ekiro” Ssaazi bwe yategeezezza.
Abadde omuyambi w’omugenzi, Coloneli Bukenya, yagambye nti omugenzi yasoma bulungi ku Mmande ku yunivasite emu esangibwa e Lubaga gy’abadde asoma amateeka.
Kyokka essaawa bwe zaawera 9:00 ogw’ekiro n’atabuka era mukyala w’omugenzi n’amukubira essimu ne bamutwala mu ddwaaliro e Lubaga. Abasawo baamukebera ne bakizuula ng’alina akasaayi ku bwongo kyokka ne babagumya nti si kya maanyi ajja kutereera.

Matovu Lwe Yabadde Mu Kkooti Okuwulira Omusango Gwe Ne Kenan Opio
Baamwekebejja ebirala nga sukaali ne puleesa nga biri mu mbeera nnungi. Kyokka we baatuukidde ku Lwokuna ng’embeera yeeyongedde okubijja ne basalawo okumutwala e Mulago era nga yabadde waakulongoosebwa ku Lwokutaano (eggulo).
Bukenya yagambye nti bwe baali mu kampeyini nga bava ku bizinga e Bussi okunoonya obululu baasanga abamagye abaabakuba emiggo egyayasa omugenzi omutwe era we yatandikira okulumwa omutwe.
Ebiseera bingi oludda lwe baakuba lubadde lutera okumuluma era nga n’olumbe olwamusse obulumi we bwatandikidde.
Enfa ya Matovu ey’obwangu ejjukizza aba NUP omubaka Hellen Nakimuli (mukazi/Kalangala) eyafa mu ngeri y’emu nga April 19, 2026 ekyewuunyisa bombi baagendedde ku myaka 41.
Enteekateeka eyalangiriddwa akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi, yalaze nti omulambo gwabadde gwakutwalibwa ku kitebe e Makerere-Kavule ku Lwokutaano akawungeezi.
Ku Lwomukaaga gwakusabirwa mu Klezia ya St. Bruno Sserunkuuma Catholic Church e Kasenge n’oluvannyuma omulambo gutwalibwe mu maka g’omugenzi agasangibwa e Kungu-Lutale ku lwe Nakawuka. Okuziika kwa ku Ssande e Kungu-Lutale ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo.
ABADDE YALOOPA OMUSANGO GW’OKUMUBBA OBULULU
Matovu, eyakuguka mu bwayinginiya w’amasannyalaze yazaalibwa April 1, 1985 nga yali mubaka wa Busiro South (2021-2026) ku tiketi ya NUP.
Yaddamu okwesimbawo mu kulonda kwa January 15, 2026, wabula n’awangulwa Kenan Opio owa NRM okusinziira ku byalangirirwa akakiiko k’ebyokulonda.
Matovu yafuna obululu 30,487 ate Opio n’afuna 36,497 wabula n’atamatira ne byalangirirwa era n’awaaba omusango mu kkooti enkulu e Ntebe ng’agamba nti okulonda kwetabikamu vvulugu mungi ekyamuviirako okuwangulwa.
Nga September 25, 2026, kkooti enkulu yagoba okusaba kwa Matovu mwe yali ayagalira akakiiko k’ebyokulonda okumuwa empapula zonna eziriko obululu bwe baafuna era kwe baasinziira okulangirira omuwanguzi.
Kyokka omulamuzi yategeeza nti yalemwa okubuulira kkooti ebifo byennyini bye yali ayagala okumuwa. Kyokka omusango gwennyini omukulu ogw’okumubba obululu w’afiiridde nga tegunnasalwa.
Mu December wa 2025, Matovu yafuna obuzibu bwe yali anoonya akululu n’akubwa bubi abantu abagambibwa okuba nga baali bambadde ebyambalo ebyefaanaanyiriza ebya UPDF era n’aweebwako ekitanda.
Abantu bangi naddala bannabyabufuzi okuva mu bibiina ebyenjawulo baatadde obubaka ku X ( eyali twitter) nga bakungubagira omugenzi.
Omukulembeze wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yagambye nti okufa kwa Matovu kwamukubye wala kuba enfa ye ebuzaabuza. Yamwogeddeko ng’abadde mukwano gwe, omukulembeze eyafudde ng’alwanirira obuwanguzi
bwe.