Amawulire

Lwaki NUP yalekeddwa bbali ku ssente za IPOD

MINISITULE y’ebyensimbi ewadde akakiiko k’ebyokulonda obuwumbi 11 n’obukadde 200 ezigenda okugabanyizibwa mu bibiina by’ebyobufuzi ebirina ababaka mu Palamenti abakkiriza okukolera mu mukago gwa IPOD.

Pulezidenti Museveni bwe yali abuuza ku bammemba abalala ab’omukago gwa IPOD.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MINISITULE y’ebyensimbi ewadde akakiiko k’ebyokulonda obuwumbi 11 n’obukadde 200 ezigenda okugabanyizibwa mu bibiina by’ebyobufuzi ebirina ababaka mu Palamenti abakkiriza okukolera mu mukago gwa IPOD.
Mu ntegeka eno, ekibiina kya NUP ekisinza ababaka (48) ku biri ku ludda oluvuganya, tekigenda kufuna ku ssente zino olw’okuba kisangiddwa tekinnakkirizibwa mu butongole okwegatta ku mukago.

Ensonda mu minisitule y’ebyensimbi zaategeezezza nti ssente zaamaze okuweerezebwa ku akawunti z’akakiiko k’ebyokulonda eza ‘kwota’ eyookubiri (October-December). Ebibiina by’ebyobufuzi birina okuweebwa obuwumbi 45 mu mwaka gw’ebyensimbi guno ogwatandika mu July wa 2026.
Ssente ziweerezebwa mu bitundu bya mirundi ena buli luvannyuma lwa myezi esatu. Omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda, Richard Baabo Kamugisha yakakasizza nga bwe baafunye ssente era nga bagenda kuziweereza ku akawunti z’ebibiina ebiri mu mukago gwa IPOD.
Kamugisha yagambye nti ssente bagenda kuzigabanya mu bibiina okusinziira ku bungi bw’ababaka be balina ng’ekisinza abangi era kye kijja okufuna omutemwa ogusinga. Uganda erimu ebibiina 27 ebyewandiisa mu kakiiko k’ebyokulonda era ne bikkirizibwa okukola. Wabula ebirina ababaka mu Palamenti biri musanvu byokka okuli; NRM erina ababaka 372, NUP-48, FDC-9, DP-6, UPC-12, PFF-2 ne ANT balina 1.
LWAKI NUP TEGENDA KUFUNA SSENTE?
Wadde nga NUP ne ANT birina ababaka kyokka tebayingizibwanga mu butongole mu mukago gwa IPOD. Palamenti yayisa etteeka mu March wa 2025 erigaana ebibiina ebiteenyigira mu mirimu gya IPOD okuddamu okufuna ssente.
Ebbago ly’etteeka lyayanjulwa omubaka Faith Nakut (mukazi/Napak) era oluvannyuma Pulezidenti n’aliteekako omukono. Mu June wa 2025, NUP yawawaabira ofiisi ya ssaabawolereza wa Gavumenti mu kkooti, n’akakiiko k’ebyokulonda ng’ewakanya obutaweebwa ssente z’ebibiina ebikiikirirwa mu Palamenti n’esaba ekiragiro kiyimirizibwe.
NUP ne ANT oluvannyuma baateekayo okusaba mu IPOD mu butongole nga baagala okugyegattako. Mu kiseera kino kigambibwa nti NUP bali mu bwetaavu bwa ssente olw’ababaka abamu okugaana okusasula ssente za buli mwezi.
Embeera y’ebbula lya ssente yaviirako ofiisi z’ekibiina nnyingi eziri mu disitulikiti ez’enjawulo okuggalwa olw’obutabaawo ssente ziziddukanya.
Dr. Lawrence Serwamba, akulira omukago gwa IPOD yagambye nti olukiiko lwa IPOD Council olutuulako bassaabawandiisi b’ebibiina lwasemba NUP ne ANT biyingizibwe mu mukago oluvannyuma lw’okutuukiriza ebisaanyizo ebyali bibasabiddwa nga okuteeka okusaba kwabwe mu buwandiike n’okulaga nti Dr. Lina Zedriga ye yali aweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okukola nga Pulezidenti mu kuteesa.
Kyokka okusaba kuno kwalina okusooka okukakasibwa olukiiko lwa waggulu olutuulako bapulezidenti b’ebibiina. Olukiiko lwalina kutuula mu July w’omwaka guno, kyokka eby’embi terutuulanga n’okutuusa leero era ebibiina ebyo tebiyingizibwanga mu mukago.
Akolanga pulezidenti wa NUP, John Baptist Nambeshe yagambye nti baateekamu dda okusaba okuyingizibwa mu IPOD kyokka tebaddibwangamu. Yagambye nti waliwo kaweefube azze akolebwa okubalemesa okufuna ssente era nga waliwo abaali balowooza nti tebajja kusaba.
Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okuyisibwa mu tteeka nti okuyingira IPOD kya buwaze, nga abagoberera amateeka baalina okukiteeka mu nkola.

NUP ERAZE KY’EZZAAKO
Omukulembeze ku lukiiko lwa NUP olw’oku ntikko eyasabye amannya gasirikirwe yagambye nti bagumu nti ssente zaabwe bajja kuzifuna ekiseera kyonna.
Yagambye nti gye buvuddeko baalina olukiiko n’abakulu b’akakiiko k’ebyokulonda ne babategeeza nti omutemwa gwabwe tebagenda kugugabira kibiina kyonna. Bagenda kusigala ne ssente zino, ng’ekiseera bwe kinaatuuka ne bakkirizibwa okuyingizibwa mu mukago olwo nga balyoka bazibawa.
Kyokka yalaze okutya nti singa omwaka gw’ebyensimbi guno guggwaako nga tebazifunye, zibeera ziddayo mu ggwanika lya Gavumenti ng’okuddamu okuziggyayo kiyinza okuba ekizibu.
Yategeezezza nti wadde nga baateekayo omusango mu kkooti ku nsonga y’emu eno omwaka oguwedde, ku mulundi guno ensonga bagenda kuzikwata mu ngeri ya byabufuzi nga bayita mu kwogerezeganya. Ssenkaggale wa DP, Nobert Mao era nga ye minisita wa ssemateeka yawadde essuubi ebibiina by’ebyobufuzi ebitannayingira mukago gwa IPOD nti baakusindikira abakulembeze b’ebibiina abataliiwo basseeko emikono basobole okuyingira.
SI GWE MULUNDI OGUSOOSE NUP OBUTAFUNA SSENTE
Mu August wa 2025, minisitule y’ebyensimbi yawa akakiiko k’ebyokulonda obuwumbi 11 ez’okugabanya ebibiina byebyobufuzi ebiri mu IPOD.
Mu kiseera ekyo akakiiko k’ebyokulonda kaategeeza nga bwe balinze okufuna okulung’amizibwa okuva ewa minisita w’ensonga za ssemateeka ku ngeri gye balina okugabanya ssente zino mu bibiina eby’enjawulo. Era gye byaggweera nga NUP tezifunye.
NUP yali yagaana okwetaba mu IPOD okuva mu 2021 nga bagamba nti omukago gukozesebwa NRM okuwuddiisa ensi nti ekolagana n’ebibiina by’oludda oluvuganya naye ng’ensonga z’enfuga ennungi n’eddembe ly’obuntu tezikolwako.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda aka DP, Kenedy Mutenyo yagambye nti engeri ssente gye zibaganyizibwamu yeetaaga kukyusibwa ebibiina byonna ne bifuna kyenkanyi nga tebagoberedde bungi bw’ababaka be balina mu Palamenti.
Amyuka omwogezi wa FDC, Walid Mulindwa yagambye nti okulwawo okubawa ssente za IPOD kibakosa mu nkola y’emirimu era nga ne mu kiseera kino bingi bye baali bategese naye byesibye.
ENNYINGIZA Y’EBIBIINA ENDALA
Ng’oggyeeko ssente za IPOD ebibiina bifuna ssente okuva mu makubo ag’enjawulo nga okufuna obuyambi okuva ebweru w’eggwanga mu bibiina ebigaba obuyambi ne mu mikwano.
Waliwo n’omutemwa gwa ssente oguweebwa okuva mu babaka buli mwezi ne zidda mu bibiina. Okugeza muli mubaka wa NUP asasula akakadde kamu ne kadda mu kibiina, aba NRM basasula 250,000/- buli mwezi ate aba FDC bawa 500,000/- buli mwezi.
Ssaabawandiisi wa PFF, Kennedy Okello yagambye nti nga ekibiina baasalawo ababaka baabwe ababiri okuli; Betty Aol Ochan (mukazi/Gulu City) ne Asinansi Nyakato (mukazi/Hoima City) baleme kubeera na muwendo gwa njawulo gwe bateeka mu kibiina.
Baasalawo ababaka baabwe bawagire emirimu gy’ekibiina mu bitundu gye bava, awamu n’okuwagira emirimu gy’ekitebe lwe kiba kyetaagisizza. Baakiraba nga kyamakulu okutambuza ekibiina nga bali wansi mu bantu okusinga okukolera e Kampala.
Lipooti eyafulumizibwa omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti eya 2023/2024 yalaga nti ebibiina ebikiirirwa mu Palamenti omwaka ogwo byaweebwa obuwumbi 44 n’obukadde 900. NRM erina ababaka 335 yafuna obuwumbi 34 n’obukadde 100 n’eddirirwa NUP abalina ababaka 57 abaafuna obuwumbi butaano n’obukadde 700.
FDC abalina ababaka 31 baafuna obuwumbi busatu n’obukadde 100, DP ne UPC abaalina ababaka 9 baafuna obukadde 908 buli kibiina. JEEMA erina omubaka omu yaweebwa obukadde 100 n’emitwalo 90 ate PPP nabo abalina omubaka omu ne bafuna obukadde 100 n’emitwalo 80.

Tags: