Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere akubirizza abantu okwagalana, okutambulira awamu n'okussa ekitiibwa mu bulamu bw’abalala. Bino abyogeredde mu missa yokukuza emyaka 60 egy'Essaza ekkulu erya Kampala.

Katikkiro Mayiga n'omukyala nga batuuka ku Lutikko.

Bafaaza n'abasaserodooti bwe baabade batuuka
Ono asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu bakadde n'okujjukira ebirungi bye bakoledde eggwanga. Abakristu abasabye okukuuma bye baasangawo, okubirabirira n'okubyongerako.
Mmisa yeetabiddwamu Abakristu okuva mu bigo eby'enjawulo. Ssemoogerere agambye nti ebikolwa bino byeyongedde nnyo nga kati n’abazadde abamu bakakkana ku baana baabwe ne babatulugunya.

Kkwaaya y'abaana ba St. Balikuddembe ss Mitala Maria ye yakulembeddemu okuyimba mu bijaguzo
Enyiriri zikulembeddwau bbandi, Abaseminaliyo n'abasaserodooti era lutikko ebooze ng'abamu ebigenda mu maaso babirabira ku ntimbe ezaateereddwa ebweru.

Minisita Kasule Lumumba yakiikiridde gavumenti eyaawakati
Gavumenti ekiikiririddwa minisita wa tekinologiya Kasule Lumumba ate obwakabaka ne bukiikirirwa Katikkiro Charles Pater Mayiga n'omukyala ssaako katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere.
Abakristu ab’enjawulo balabiddwako nga bannekedde mu kyambalo ekitongole eky'ebikujjuko bino.