Amawulire

Ssaabasumba avumiridde abantu abatuusa ku bannaabwe ebikolobero mu bijaguzo e Lubaga

Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere akubirizza abantu okwagalana, okutambulira awamu n'okussa ekitiibwa mu bulamu bw’abalala. Bino abyogeredde mu missa yokukuza emyaka 60 egy'Essaza ekkulu erya Kampala. 

Ssaabasumba avumiridde abantu abatuusa ku bannaabwe ebikolobero mu bijaguzo e Lubaga
By: Ponsiano Nsimbi, Journalist @New Vision

Ssaabasumba w'Essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemogerere akubirizza abantu okwagalana, okutambulira awamu n'okussa ekitiibwa mu bulamu bw’abalala. Bino abyogeredde mu missa yokukuza emyaka 60 egy'Essaza ekkulu erya Kampala.

Katikkiro Mayiga n'omukyala nga batuuka ku Lutikko.

Katikkiro Mayiga n'omukyala nga batuuka ku Lutikko.

Ssaabasumba asinzidde wano n’avumirira abantu abatuusa ku bannaabwe ebikolobero ng'anokoddeyo eyali omubaka wa Busiro South Charles Matovu eyafudde kyokka nga yali yamutegeezaako nga bwe yakubwa obubbi ennyo mu biseera bya kkampeyini omwaka oguwedde bwe yali ava ku kizinga ky’e Bussi bwe yali agezaako okuwolereza abawagizi be abaali batulugunyizibwa abeebyokwerinda.

Bafaaza n'abasaserodooti bwe baabade batuuka

Bafaaza n'abasaserodooti bwe baabade batuuka

Ono asabye gavumenti okussa ekitiibwa mu bakadde n'okujjukira ebirungi bye bakoledde eggwanga. Abakristu abasabye okukuuma bye baasangawo, okubirabirira n'okubyongerako.

 

Mmisa yeetabiddwamu Abakristu okuva mu bigo eby'enjawulo. Ssemoogerere agambye nti ebikolwa bino byeyongedde nnyo nga kati n’abazadde abamu bakakkana ku baana baabwe ne babatulugunya.

Kkwaaya y'abaana ba St. Balikuddembe ss Mitala Maria ye yakulembeddemu okuyimba mu bijaguzo

Kkwaaya y'abaana ba St. Balikuddembe ss Mitala Maria ye yakulembeddemu okuyimba mu bijaguzo

Enyiriri zikulembeddwau bbandi, Abaseminaliyo n'abasaserodooti era lutikko ebooze ng'abamu ebigenda mu maaso babirabira ku ntimbe ezaateereddwa ebweru.

Minisita Kasule Lumumba yakiikiridde gavumenti eyaawakati

Minisita Kasule Lumumba yakiikiridde gavumenti eyaawakati

Gavumenti ekiikiririddwa minisita wa tekinologiya Kasule Lumumba ate obwakabaka ne bukiikirirwa Katikkiro Charles Pater Mayiga n'omukyala ssaako katikkiro eyawummula Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere.

 

Abakristu ab’enjawulo balabiddwako nga bannekedde mu kyambalo ekitongole eky'ebikujjuko bino.

 

 

Tags:
Ssaabasumba
Lubaga
Kujaguza
Kuvumirira
Bantu