Amawulire

Gavumenti yeddizza obuyinza bw’okuliiyirira abaliraanye ekkolero ly’eddagala erikola mu malwaliro

GAVUMENTI yeddizza obuvunaanyizibwa bw'okuliyirira n'okusengula abantu ku ttaka  okusobozesa kkampuni ya Dei BioPharma okugaziwa.  

Gavumenti yeddizza obuyinza bw’okuliiyirira abaliraanye ekkolero ly’eddagala erikola mu malwaliro
By: Sharon Nabasirye, Journalist @New Vision

GAVUMENTI yeddizza obuvunaanyizibwa bw'okuliyirira n'okusengula abantu ku ttaka  okusobozesa kkampuni ya Dei BioPharma okugaziwa.  

Abamu ku batuuze abaabadde mu lukiiko n'abakungu ba gavumenti

Abamu ku batuuze abaabadde mu lukiiko n'abakungu ba gavumenti

Obubaka buno bwaweereddwa baminisita 3 abeetabye mu lukung’aana olwabaddemu banannyini ttaka n’ebibanja okuva mu byalo ebirinaanye kKampuni eno e Kigoogwa mu diviizoni ya  Gombe mu Wakiso.

 

Ku bano kwabaddeko ssaabawoleleza wa gavumenti Dr. Sam Mayanja , minisita w'ettaka Judith  Nalule Nabakooba , minisita  ow'ebyenkulaakulana ne bamusigansimbi hajjati Amina Mukalazi  

 

Ssaabawolereza wa gavumenti, Dr. Mayanja yagambye nti okusinziira ku mateeka agaliwo , gavumenti yeddizza obuyinza bwonna era teri muntu akkirizibwa kugaanira ku ttaka lino era abantu abaliririko baakuliyirirwa  mu bwangu.

Minisita Nabakooba ng'annyonnyola.

Minisita Nabakooba ng'annyonnyola.

Ebigambo bye bikkaatiriziddwa minisita Nabakooba n’agamba nti aleese abakugu n'abasaveya abagenda okugumba ku kkolero lino okusisinkana abakulembeze b'ebitundu okufuna amannya g'abantu bonna abagenda okukosebwa , okupima obunene  bw'ettaka bwe baagala,  okuyita mu  biwandiiko n'okukuba empenda obulungi.

 

Minisita ow'enkulaakulana ne bamusig nsimbi mu ofiisi ya pulezidenti Amina Mukalazi azzeemu okukubiriza abatuuze  okwewala okukozesa babbulooka okugoba ku ssente zaabwe.

 

Nannyini kkolero lya Dei BioPharma Dr. Mathias Magoola asuubizza abatuuze abalina abaana abasomye emirimu gyonna babaleete batandiike okubawandiika bafune emirimu kuba kkampuni ejja kwetaaga abakozi abasukka mu mitwalo 4.

 

Abatuuze abamu babadde basanyufu era basabye basasulwe mu bwangu bagende newankubadde abamu basabye baweebweyo ku budde.

 

Tags:
Gavumenti
Ttaka
Dei BioPharma
Waksio
Wakiso
GOmbe