Bya Moses Ssewankambo ne Harriet Nakalema
Dr Lule Ntwatwa kkooti mutani weeyaaliko omukulembeze w'eggwanga Yusuf Lule, bamutaddeko ekibaluwa ki bakuntumye oluvannyuma lw'obutalabikako mu kkooti ku misango gy'okusalimbira ku ttaka..
Munnamateeka wa Ntwatwa asabye kkooti okubawaayo obudde basobole okuleeta omuntu waabwe mu kkooti kuba ali ku kitanda e Mmengo puleesa zamukubye
Omuwaabi wa gavumenti Allan Mucunguzi kino abiwakanyizza n'ategeeza omulamuzi nti ekyobulwadde bwa Ntwatwa babade tebakimanyiiko era tewaliwo biwandiiko bikaakasa nti ono mulwadde era n'asaba ono bamuyiseeko ekibaluwa ki bakuntumye kuba kkooti ebadde esala leero omusango.