Amawulire

Gavt. etaddewo obuwumbi 91 okuliyirira aba leerwe

GAVUMENTI etaddewo obuwumbi 91, ez’okuliyirira abantu abagenda okukosebwa mu kuddabiriza oluguudo lw’eggaali y’omukka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Omu ku bakadde abaakooneddwa ennyumba ye e Nabaziza mu Kyengera Town Council.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GAVUMENTI etaddewo obuwumbi 91, ez’okuliyirira abantu abagenda okukosebwa mu kuddabiriza oluguudo lw’eggaali y’omukka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.
Ssente zino zaakuliyirira abantu mu bitundu bya Kampala ne Mukono okusoboozezza okuddaabiriza oluguudo luno okugenda mu maaso. Kino we kijjidde nga Gavumenti eteekateeka kuddaabiriza layini ya Kampala-Malaba Meter Guage Railway (MGR) egendereddwaamu okusitula omutindo gw’entambula y’abantu n’ebyamaguzi ssaako okukendeeza akalippagano k’ebidduka ku nguudo ez’enjawulo.

Wabula wadde ekitongole ky’eggaali y’omukka ekya Uganda Railway Corporation (URC) tebalina nteekateeka ya kuliyirira bantu beesenza ku ttaka lyabwe mu bukyamu, minisita w’ebyentambula Fred Byamukama yasinzidde mu Palamenti ku Lwokuna lwa wiiki ewedde n’ategeeza nti okuliyirira abantu abakoseddwa kamu ku kawaayiro mu ndagaano eyatuukibwako ne banka ya African Development Bank (AFDB) agenda okuvujjirira omulimu guno.
Yayongeddeko nti banka eno yateeka Gavumenti ku nninga okusooka okuliyirira abantu bano nga tennawaayo ssente za pulojekiti ya Kampala-Malaba. “Kyakkaanyiziddwaako nti nga tetunaggyayo looni tulina okusooka okuliyirira abantu,’’ Byamukama bwe yategeezezza.
Minisita yagenze okuvaayo ku nsonga eno nga ku Mmande ya wiiki eno ekitongole kya URC, kyatandise ebikwekweto by’okusengula abeesenza ku ttaka lyabwe nga bino byatandikidde Kyengera - Nabaziza ku lw’eMasaka. Mu kiwandiiko kye yasomedde Palamenti yategeezezza ng’ettaka ly’ekitongole ky’eggaali y’omukka bwe liweza yiika 20,807 okuli n’ebibangirizi mwe zisimba.
Yayongeddeko nti okunoonyereza okwakolebwa ekitongole kwazuula ng’abantu 28,487 bwe beesenza ku ttaka lino mu bukyamu okuli n’ababaka ba palamenti okuli; Hussein Muyonjo ‘Swengere’ (Jinja East) ne Paul Mwiru (Jinja munisipaali) nga bano balinako n’ebizimbe.
Minisita yagambye nti, layini ya Namanve - Malaba y’esingamu abantu abagenda okukosebwa nga bali 9,989. Yayongeddeko nti ebbanga eggaali lye yamala nga tekola abantu baakozesa omukisa okwongera okwesenza ku ttaka lino.
Kino kyawalirizza Gavumenti okutandika okwerula empenda n’okusimba ebikondo ebiraga ettaka we liyita ssaako okusazaamu ebyapa ebyagabibwa ku ttaka lino. Okusinzira ku URC, okuliyirira abagenda okukosebwa kwakukolebwa kw’abo abali ku layini ya Malaba - Namanve n’ebitundu ebirala.
Enteekateeka eno essira yaakulissa ku ngeri abantu gye baakoseddwaamu. Okuddaabiriza eggaali y’omukka kwakumalawo obukadde bwa doola 301 (mu za Uganda akawumbi 1.2).
Enteekateeka eno ne kati ekyakugabaganya abantu empawa naddala ku bugazi bw’ettaka eryogerwako nti lya ggaali ya mukka.
BE BAMENYE E NABAZIZA NE NABBINGO BEEVUMA BABBULOOKA
Abamu ku batuuze abaasenguddwa e Kyengera-Nabaziza, Bataka ne Nabbingo beevuma babbulooka b’ettaka be bagamba nti baabafera nga babaguza ettaka ly’eggaali y’omukka.
Bano kuliko Bannayuganda, Abacongo n’Abanyarwanda. Bagamba nti nti poloti baazigula wakati w’obukadde 4 ne 10 nga babadde n’essuubi nti banaaliyirirwa kyokka balabidde awo nga biweetiiye bibasenda.
Emily Natukunda, munnansi wa Rwanda yategeezezza nti yagula poloti ku bbulooka amanyiddwa nga Ssaalongo ku obukadde 4 n'azimbako ennyumba mw'abadde abeeera ne famire ye, kyokka yamenyeddwa. Yagambye nti wano talinaawo waaluganda yenna era tamanyi waakutandikira n’asaba Gavumenti emudduukirire.
Sylvia Namata agamba nti poloti baagimuguza obukadde musanvu n’asonda obusente bwe n’azimbamu ennyumba gye baamenye. Agamba nti ekisinga okumuluma kwe kuba nga talina kye yataasizza kuba ekikwekweto kyagenze okutandika ng’ali ku mulimu.
“Sirina waakutandikira kuba ne ssente ezaabadde mu nnyumba zaaziikiddwa,’’ Namata bwe yategeezezza.
E Nabbingo mu Bataka waliwo abasawo b’ekinnansi be baamenyedde amasabo agasoba mu 10 nga bano baalabiddwaako nga beegayirira okubawaayo akadde basengule bajjajja baabwe nga buteerere.
Charles Ssemugooma, alumirizza Tamale abadde ssentebe w’ekirombe ky’omu Bataka e Nabbingo okwekobaana ne babbulooka ne bamufera nga bamuguza ettaka ly’eggaali y’omukka ekyamufiirizza ebintu byonna.
Alumirizza Tamale okuteeka omukono ku ndagaano kwe yagulira poloti ng’ono olwalabye nga byonoonese n’abulawo.
Omwogezi w’ekitongole kya URC, John Lenoni Ssengendo yazzeemu okukikkaatiriza nga bwe batalina nteekateeka ya kuliyirira muntu yenna mu bitundu gye basengudde okuggyako mu bitundu ebimu ku Kampala n’e Mukono.

Tags: