Amawulire

Bakutte agambibwa okutta omutuuze e Namawojjolo

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Namawojjolo mu ggombolola y’e Nama e Mukono, abatemu bwe bakkakkanye ku mukazi ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta.Attiddwa ye Maria Namawejje ng’abadde akola mu katale k’e Namawojjolo.

Bujinge yakwatiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Namawojjolo mu ggombolola y’e Nama e Mukono, abatemu bwe bakkakkanye ku mukazi ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta.
Attiddwa ye Maria Namawejje ng’abadde akola mu katale k’e Namawojjolo. Omulambo gwa Namawejje gwasangiddwa eggulo ku makya mu maaso g’omuzigo gw’abadde apangisa nga kiteeberezebwa nti abaamusse baasoose kumusobyako kirindi.

Okuliraana awasangiddwa omulambo waabaddewo ensiitaano nga n’akawale k’omunda kaasangidwa kayuziddwa era nga kabunye omusaayi.
Abakozi b’e Namawojjolo omugenzi w’abadde akolera baategeezezza nti, omugenzi baakomye okumulaba ekiro ng’adda ewuwe era kyababuuseeko okubategeeza nti yasangiddwa attiddwa.

Omugenzi Namawejje.

Omugenzi Namawejje.


Abatuuze baavumiride ettemu lino ne bagamba nti lyandiba nga livudde ku bavubuka abasusse okukozesa ebiragalalagala ne bagattako nti okusobya ku bawala n’abakazi gwafuuka muze ku kyalo.
Poliisi okuva e Mukono yayitiddwa n’ejja n’embwa ekonga olusu eyakulembedde abapoliisi okuva e Namawojjolo n’ebatambuza okutuuka e Walusubi n’eyingira mu kifo abavubuka we basibira bettingi.
Bwe yavudde wano yasibidde ku Karim Bujinge era bwe yagirabye n’adduka, n’emugoba n’akwatibwa n’atwalibwa ku poliisi. Sentebe w’ekyalo Namawojjolo East, Charles Lwanga yategeezezza nti, ettemu yalitegedde ku makya n’agamba nti baakutandika ebikwekweto okufuuza abamenyi b’amateeka. Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika mu kitundu.
Kansala wa Namawojjolo Ward yategeezezza nti ebyalo 3 tebirina bakulembeze basobola kukuuma bantu
Tags: