Amawulire

Lipoota ku kukulaakulanya City Square bagitwalidde Pulezidenti

OLUKIIKO olwateekebwawo okwekenneenya eby’okukulaakulanya ekibangirizi kya Constitutional Square lumalirizza okukola lipooti gye baawadde omukulembeze w’eggwanga.

Hassan Bulwadda
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OLUKIIKO olwateekebwawo okwekenneenya eby’okukulaakulanya ekibangirizi kya Constitutional Square lumalirizza okukola lipooti gye baawadde omukulembeze w’eggwanga.
Kiddiridde Pulezidenti Museveni okulagira minisita wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda akwatagane n’ebitongole ebirala ebivunaanyizibwa beekenneenye okusaba kw’omusuubuzi Hajji Hassan Bulwadda akukulaakulanye ekibangirizi kya Constitutional Square ekya yiika ebbiri kifuulibwe eky’omulembe nga kiriko wooteeri, ssemaduuka, n’ebintu ebirala.

Kabanda yategeezezza Bukedde nga lipooti bwe baagimalirizza ne bagiwaayo era nga yamaze dda okuteekebwa ku bintu ebigenda okuteesebwako mu lukiiko lwa Kabineeti ku Mmande ya wiiki ejja.
Akakiiko akaakoze lipooti kuliko; minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi Susan Nakawuki, minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda Juma Kisekka Witonze, minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba, Ssaabawolereza wa Gavumenti Dr. Sam Mayanja, minisita w’ensonga z’Obwapulezidenti Milly Babalanda ne minisita omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye n’akakiiko ka National Planning Authority.
Ensonda mu kakiiko zaategeezezza nti baasembye ekifo kikulaakulanyizibwe kifuuke eky’omulembe kyokka nga teboononye butonde bwa nsi.
Baasembye omuddo n’emiti biweebwe ekifo we birabikira obulungi ku bizimbe ebinaazimbibwa, n’okulaba ng’ebifo by’ekijjukizi eby’enkizo nga bikuumirwa butiribiri era biteekwebwe mu kifo abantu we bajja okubirabiranga.
Baasabye musigansimbi afube okulaba ng’ateekawo ekifo abantu ba bulijjo we basobola okuwummulira nga kya bwereere.
Kyokka waliwo abantu abazze bawakanya enkulaakulana ya Consititutional Square nga Loodi Meeya Ronald Nsubuga Balimwezo n’akulira oludda oluvuganya Joel Ssenyonyi abagamba nti kyandibadde kirekebwawo kubanga ebifo bingi abantu mwe baali bawummulira bizze bisaanyizibwawo.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga y’omu ku bawakanya okulaakulanya ekifo kino ng’agamba nti Kampala ekyetaaga ebifo ebyetadde ebiwera okusinga ebizimbe ne zi wooteeri mu kibuga wakati kuba amakkati g’ekibuga geetaaga ebibangirizi ebiwera.
SSAABAWOLEREZA ASEMBYE
EKIFO KIKULAAKULANYIZIBWE
Ssaabawolereza wa Gavumenti, Dr. Sam Mayanja asembye ekibangirizi kino kikulaakulanyizibwe nga bwe kiri ku bintu ebyalekebwawo abafuzi b’amatwale emyaka 100 emabega bwe bizze bikyusibwa.
Yagambye nti nga ebizimbe ebikadde ennyo bwe bizze bikulaakulanyizibwa, n’ekibangirizi kino kisaanidde okukulaakulanyizibwa kive mu mbeera y’abafuzi b’amatwaale we baakirekera kifuulibwe ekyomugaso okusinga bwekiri kati.

Tags: