Abantu abasoba mu 200 bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi mu Kampala.
E Kabalagala mu zooni ya Maaso, Ana Zooni e Kansanga bafunye 28.

Ebizibiti
Waliwo Ali Muhamad , Jovan Mukiibi wamu ne Simon Semwanga , bagiddwa mu Ndeba n'ebigambibwa okuba ebiso.
Mu Nansana omuli Nabweru North, poliisi era ekutte Shakirah Babirye agambibwa okutunda enjaga era nga bamuvunaana n'okutuusa obuvune n'akambe ku musirikale wa poliisi mu kikwekweto.
Mu Bengazi , ne Nakawa mu katale, bakutte 12 . Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti baliko ebizibiti ebiwerako bye bazudde n'ebyuma ebyeyambisibwa okumenya amayumba