Amawulire

Abantu abasoba mu 200 bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi mu Kampala.

Abantu abasoba mu 200 bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi mu Kampala. E Kabalagala mu zooni ya Maaso, Ana Zooni e Kansanga bafunye 28.

Abamu ku bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abasoba mu 200 bakwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa poliisi mu Kampala. 

E Kabalagala mu zooni ya Maaso, Ana Zooni e Kansanga bafunye 28.

E Katwe, bakutte 130 okuva e Busaabala, Kosovo mu Salaama, Kategula mu Kibiye 2  ne Ndeba. Ku bano abasajja 76 n'abakazi 54.

Ebizibiti

Ebizibiti

Waliwo Ali Muhamad , Jovan Mukiibi  wamu ne Simon Semwanga , bagiddwa mu Ndeba n'ebigambibwa okuba ebiso.

E Kyebando , Bahaayi, ne Kikaaya, poliisi ya Kira Rd eyodde 14 , okuva mu bifo gyebanywera enjaga n'okuteega abantu. 

Mu Nansana omuli Nabweru North, poliisi era ekutte Shakirah Babirye agambibwa okutunda enjaga era nga bamuvunaana n'okutuusa obuvune n'akambe ku musirikale wa poliisi mu kikwekweto. 

Mu Bengazi , ne Nakawa mu katale, bakutte 12 . Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti baliko ebizibiti ebiwerako bye bazudde n'ebyuma ebyeyambisibwa okumenya amayumba

Tags: