ABANTU babiri abagambibwa okubeera mu kibinja ekirudde nga kibba pikipiki, bakwatiddwa poliisi e Bulenga ne Wabigalo e Mityana.
Basangiddwa e Bulenga B e Ssumbwe n'emu ku pikipiki egambibwa okuba enzibe nnamba UFH 287P nga bagisumulula awamu ne nnamba plates okuli UFU 063X ne UFZ 112 P ezirowoozebwa okuba ejingirire.
Kigambibwa nti mu kukunya Kitandwe alookomye ekifo ekirala e Wabigalo Mityana we basanze pikipiki endala bbiri okuli UMA 878BD ne UGB 115D .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Racheal Kawala, agambye nti okuyigga abalala kugenda mu maaso.