Amawulire

ABANTU babiri abagambibwa okubeera mu kibinja ekirudde nga kibba pikipiki, bakwatiddwa

ABANTU babiri abagambibwa okubeera mu kibinja ekirudde nga kibba pikipiki, bakwatiddwa poliisi e Bulenga ne Wabigalo e Mityana.

Apollo Kitandwe 39 ne Patrick Tamele
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri abagambibwa okubeera mu kibinja ekirudde nga kibba pikipiki, bakwatiddwa poliisi e Bulenga ne Wabigalo e Mityana.

Basangiddwa e Bulenga B e Ssumbwe n'emu ku pikipiki egambibwa okuba enzibe nnamba UFH 287P nga bagisumulula  awamu ne nnamba plates okuli UFU  063X ne UFZ 112 P ezirowoozebwa okuba ejingirire.

Abakwatiddwa, kuliko Apollo Kitandwe 39 omutuuze w'e Kikaaya mu Wakiso ne Patrick Tamele ow'e Wabigalo e Mityana.

Kigambibwa nti mu kukunya Kitandwe alookomye ekifo ekirala e Wabigalo Mityana we basanze pikipiki endala bbiri okuli UMA 878BD ne UGB 115D .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala Racheal Kawala, agambye nti okuyigga abalala kugenda mu maaso.

Tags: