Amawulire

Gav't ya Uganda ne Sweden basse omukago gw'okuzimba layini z'amasannyalaze okuva e Karuma okutuuka e Tororo

 GAVUMENTI ya Uganda nga eri wamu ne ya Sweden batongozza okuzimba layini y’amasannyalaze amangi okuva e Karuma okudda e Tororo  mu bungi bwa  400KV nga egenda kumalaawo ensimbi obukadde  ezisoba mu bukadde 36 eza balaaya  mu bbanga lya myaka esatu gyokka.   

Minisita w'amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Monica Musenero wamu n'omubaka wa Sweden mu Uganda Anna - Maria Olsson bwe baabadde batongoza okutandika okuzimba layini amangi okuva e Karuma okudda e T
By: Procopios Lumu, Journalist @New Vision

 GAVUMENTI ya Uganda nga eri wamu ne ya Sweden batongozza okuzimba layini y’amasannyalaze amangi okuva e Karuma okudda e Tororo  mu bungi bwa  400KV nga egenda kumalaawo ensimbi obukadde  ezisoba mu bukadde 36 eza balaaya  mu bbanga lya myaka esatu gyokka.
Okusinziira ku minisita w’amasannyalaze n’obugagga  obw’ensibo  Monica Musenero  atutegeezezza nti amasannyalaze gano  gagenda kuyisibwa mu  egenda kuyita mu disitulikiti 15 okutuuka e Tororo nga bagenda kuzimbako  n’amakungaanyizo g’amasannyalaze  abiri zayite power stations.

Minisita w'amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Monica Musenero wamu n'omubaka wa Sweden mu Uganda Anna - Maria Olsson bwe baabadde batongoza okutandika okuzimba layini amangi okuva e Karuma okudda e Tororo.

Omukolo gw’okutongoza gubadde Ntinda awagenda okuzimbibwa ekkungaanyizo erya Ntinda power station nga omukolo gwetabiddwako n’omubaka wa Sweden mu Uganda n’abantu abalala bangi.
Mu kwogera kwe minisita w’amasannyalaze n’obugagga obw’ensibo Monica Musenero agambye nti layini eno egenda kuyambako  mu ku tebenkeza amasannyalaze saako okwongera ku bungi bw’amasannyalaze mu kibuga n’ebitundu eby’etooloddewo saako okuwa abantu mu bitundu bino amasannyalaze.
Musenero ategezezza nti layini eno egenda kuyambako eggwanga okusobola okukozesa amasannyalaze agabadde amangi emu bbibiro erya Karuma.
Agambye nti pulojekiti eno egenda kubaamu ensimbi mpitirivu ng’agamba nti egenda kuyamba abantu mu buli disitulikiti layini mwegenda okuyita era nga wano akubidde banna Uganda omulanga obutalemesa mulimu guno.

Minisita w'amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Monica Musenero bwe yabadde attongozza okuzimba layini y'amasannyalaze egenda okuva e Karuma okudda e Tororo.

Minisita w'amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Monica Musenero bwe yabadde attongozza okuzimba layini y'amasannyalaze egenda okuva e Karuma okudda e Tororo.

Kyokka  Musenero  asabye banna Uganda bonna naddala abakulembeze mu bitundu layini gy’egenda okuyita okulaba nga batangira okubba amasannyalaze kubanga kino kimu ku biyinza okugotaanya pulojekiti eno.
Asiimye  omubaka w’ekitebe kya Sweden mu Uganda olw’enkolagana ennungi saako ebitongole ebirala ..
Musenero agambye nti amasannyalaze gano gagenda kwongera ku bungi bw’amakolero mu bitundu by’obuva njuba nga bw’anannyonnyola……..
Ye omubaka wa Sweden mu Uganda Anna-Maria Olsson agambye ya ttendo nnyo eri eby’enfuna bw’eggwanga saako eri banna Uganda bonna okutwaliza awamu nti kubanga egenda kwongera okutereeza n'okulinyisa omutindo gw’amasannyalaze mu ggwanga.

Anna - Maria Olsson omubaka wa Sweden mu Uganda ng'awa obubaka bwe oluvannyuma lw'okutongoza layini y'amasannyalaze egenda okuva e Karuma okudda e Tororo

Anna - Maria Olsson omubaka wa Sweden mu Uganda ng'awa obubaka bwe oluvannyuma lw'okutongoza layini y'amasannyalaze egenda okuva e Karuma okudda e Tororo

Olisson agambye nti layini eno egenda kuyambako bamusiga nsimbi okuva mu ggwanga lya Sweden era ono agambye nti bagenda kukola buli kisobola okulabanga omulimu gutambula bulungi.
Omulimu gw’okuzimba gukwasiddwa kampuni ya KALPA TARU  era nga ensimbi ezigenda okukola omulimu guno zewoleddwamu  okuva mu bank ya  Standard Chartered

Tags: