GAVUMENTI ya Uganda nga eri wamu ne ya Sweden batongozza okuzimba layini y’amasannyalaze amangi okuva e Karuma okudda e Tororo mu bungi bwa 400KV nga egenda kumalaawo ensimbi obukadde ezisoba mu bukadde 36 eza balaaya mu bbanga lya myaka esatu gyokka.
Okusinziira ku minisita w’amasannyalaze n’obugagga obw’ensibo Monica Musenero atutegeezezza nti amasannyalaze gano gagenda kuyisibwa mu egenda kuyita mu disitulikiti 15 okutuuka e Tororo nga bagenda kuzimbako n’amakungaanyizo g’amasannyalaze abiri zayite power stations.

Minisita w'amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Monica Musenero wamu n'omubaka wa Sweden mu Uganda Anna - Maria Olsson bwe baabadde batongoza okutandika okuzimba layini amangi okuva e Karuma okudda e Tororo.

Minisita w'amasannyalaze n'obugagga obw'ensibo Monica Musenero bwe yabadde attongozza okuzimba layini y'amasannyalaze egenda okuva e Karuma okudda e Tororo.
Kyokka Musenero asabye banna Uganda bonna naddala abakulembeze mu bitundu layini gy’egenda okuyita okulaba nga batangira okubba amasannyalaze kubanga kino kimu ku biyinza okugotaanya pulojekiti eno.
Asiimye omubaka w’ekitebe kya Sweden mu Uganda olw’enkolagana ennungi saako ebitongole ebirala ..
Musenero agambye nti amasannyalaze gano gagenda kwongera ku bungi bw’amakolero mu bitundu by’obuva njuba nga bw’anannyonnyola……..
Ye omubaka wa Sweden mu Uganda Anna-Maria Olsson agambye ya ttendo nnyo eri eby’enfuna bw’eggwanga saako eri banna Uganda bonna okutwaliza awamu nti kubanga egenda kwongera okutereeza n'okulinyisa omutindo gw’amasannyalaze mu ggwanga.

Anna - Maria Olsson omubaka wa Sweden mu Uganda ng'awa obubaka bwe oluvannyuma lw'okutongoza layini y'amasannyalaze egenda okuva e Karuma okudda e Tororo
Olisson agambye nti layini eno egenda kuyambako bamusiga nsimbi okuva mu ggwanga lya Sweden era ono agambye nti bagenda kukola buli kisobola okulabanga omulimu gutambula bulungi.
Omulimu gw’okuzimba gukwasiddwa kampuni ya KALPA TARU era nga ensimbi ezigenda okukola omulimu guno zewoleddwamu okuva mu bank ya Standard Chartered