Amawulire

Bungereza esindise ennyonyi enkambwe okukuba bamasinale ba Iran

LONDON, BungerezaBUNGEREZA erabye America ekyesisiggirizza okutaasa Saudi Arabia n’eyungula ennyonyi zaayo mutasubwa okukuba bamasinale ba Iran abafunze ekyonga nga bakola ennumba ku kibuga Riyadh.

Ennyonyi ekika kya RAF Eurofighter Typhoon fighter Jet, Bungereza gye yaweerezza.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

LONDON, Bungereza
BUNGEREZA erabye America ekyesisiggirizza okutaasa Saudi Arabia n’eyungula ennyonyi zaayo mutasubwa okukuba bamasinale ba Iran abafunze ekyonga nga bakola ennumba ku kibuga Riyadh.

Ennyonyi za Bungereza ezaasoose okutuuka mu Saudi Arabia za kika kya Typhoon Fighter Jets, ez'eggye lya Royal Air Force ezaawangiddwa mizayiro ez’obulabe okukuba abalwanyi aba Houthi ab'e Yemen, Iran beepokera ebyokulwanyisa ebya okukuba Saudi Arabia ne Yisirayiri.
Bungereza yasazeewo okuyambako ku Saudi Arabia oluvannyuma lwa America okukulula ebigere mu nsonga zino sso ng’olutalo lwa aba Houthi ne Saudi Arabia lwongedde bbeeyi y’amafuta.
Ennyonnyi, ekika kya Typhoon Bungereza z’eyungudde z'amaanyi nga bw’eneegatta ku F-35, F-16, F-15E Saudi Arabika z'ekozesa, awo aba Houthi eyabaalula esiridde!
Mu kiseera kino aba Houthi bafuuse ekizibu mu Buwalabu nga kumpi buli ayogera ku Iran gwe beegezaamu kyokka Saudi yo baagifuulidde ddala kagoma.
Gye buvuddeko baakubye ekibuga ekikulu Riyadh n’ekisaawe kyayo eky’ennyonyi ekya King Khalid International Airport ekisinga obunene mu ggwanga eryo. Olulumba olwo lwasse abantu 13 abalala 300 ne bagendera ku bisago.
Omwezi oguwedde beegeza mu kibuga Mecca ne Kaaba, ensi z’Abasiraamu ne zitabuka. Ekyasinze okutabula Abazungu, be ba Houthi abakolera ku biragiro bya Iran ebawa emmundu, okwesasuliza ku mafuta gaayo nga nayo America bwe yagigaana okutunda amafuta n’eggala emyalo gyayo.
Baakubye payipu mwe babadde bagayisa olwa Iran okuggala akagolomolo ka Strait of Hormuz, olwo n’etandika okugayisa ku lukalu mu sisitiimu ya East-West Crude Oil Pipeline. Eyo olwagikubye ne bitabuka ng’amafuta agatuuka mu Bulaaya n’ensi yonna gongedde okukenddeera Bungereza n’eyingirawo

Tags: