GAVUMENTI ya Uganda n’eya Somalia zitandise okwekenneenya ebyo ebituukiddwaako mu ndagaano ze zaakola wansi w’olukiiko lwa Joint Permanent Commission (JPC).
Bino byakutuukibwako mu lukung’aana olunaamala ennaku ebbiri mu kibuga Mogadishu ekya Somalia nga lwagattidwaako olukung’aana lw’abasuubuzi ne bannamakolero okunoonyeza ebyamaguzi bya Uganda akatale.
Vincent Bagiire Waiswa, omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ensonga z’ebweru yagambye nti mu lukiiko luno baakwetegereza ebyasalibwawo mu lukiiko lwa JPC olwatuula e Kampala nga October 8, 2025, n’endagaano ze baakola.
“Okuteeka emikono ku ndagaano kulina okuvaamu enkolagana erimu ebibala ebirabika, ebireeta enkulaakulana n’obugagga,” Bagiire bwe yagambye.
Mu lukiiko lwa JPC olwasooka mu August wa 2022, amawanga gombi gassa emikono ku ndagaano z’ebyobusuubuzi, okusiga ensimbi, ebyobufuzi n’ebyokwerinda ate olwa 2025, wassibwawo endagaano endala ssatu ku byokwerinda n’ebirala.
Bagiire yagambye nti Uganda yawaddeyo ebiwandiiko by’endagaano ku bibalo mu byobulamu, omutindo gw’ebintu ebiva mu Uganda n’endagaano mu kubangula amagye. Minisita w’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’ebibuga, Gen. Henry Tumukunde, y’asuubirwa okussa omukono ku ndagaano eno ku lwa Uganda.
Gen. Tumukunde yagambye nti endagaano eno yaakugonjoola ebizibu Bannayuganda abakolera e Somalia bye beemulugunyaako, omuli okugobwa ku mirimu mu bukyamu, obutasasulwa misaala, okubaggyako paasipooti zaabwe, okulemesebwa okudda e Uganda, n’okukola awatali ndagaano.
Amawanga gombi gassaawo akakiiko ka Joint Permanent Investment Business Council okugonjoola eky’abasuubuzi abaddukanya bizinensi wakati w’amawanga gombi kyokka kabadde tekannatandika kukola naye minisita yategeezezza nti ensubulagana wakati w’amawanga gombi yeeyongedde.
Ebintu Uganda by’etunda e Somalia byava ku doola obukadde 2.75 (mu za Uganda obuwumbi 10) mu 2023 ne bituuka ku doola obukadde 6.78 (mu za Uganda obuwumbi 25) mu 2024, okusinziira ku bibalo by’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN Comtrade).
Bagiire yagambye nti Uganda esobola okweyambisa olubalama lwa Indian Ocean ku ludda lwa Somalia, oluweza kiromita 3,333, okutambuza ebyamaguzi okutuuka mu butale bw’amawanga g’Abawalabu n’ayozaayoza Somalia olw’okuyingira omukago gw’amawanga ga East Africa.
Olukung’aana lw’abasuubuzi lusuubirwa okuggalwawo n’endagaano ya Mogadishu Declaration.