GAVUMENTI yeddizza obuvunaanyizibwa bw'okuliyirira n'okusengula abantu ku ttaka okusobozesa kkampuni ya Dei BioPharma okugaziwa.

Abamu ku batuuze abaabadde mu lukiiko n'abakungu ba gavumenti
Ku bano kwabaddeko ssaabawoleleza wa gavumenti Dr. Sam Mayanja , minisita w'ettaka Judith Nalule Nabakooba , minisita ow'ebyenkulaakulana ne bamusigansimbi hajjati Amina Mukalazi
Ssaabawolereza wa gavumenti, Dr. Mayanja yagambye nti okusinziira ku mateeka agaliwo , gavumenti yeddizza obuyinza bwonna era teri muntu akkirizibwa kugaanira ku ttaka lino era abantu abaliririko baakuliyirirwa mu bwangu.

Minisita Nabakooba ng'annyonnyola.
Ebigambo bye bikkaatiriziddwa minisita Nabakooba n’agamba nti aleese abakugu n'abasaveya abagenda okugumba ku kkolero lino okusisinkana abakulembeze b'ebitundu okufuna amannya g'abantu bonna abagenda okukosebwa , okupima obunene bw'ettaka bwe baagala, okuyita mu biwandiiko n'okukuba empenda obulungi.
Minisita ow'enkulaakulana ne bamusig nsimbi mu ofiisi ya pulezidenti Amina Mukalazi azzeemu okukubiriza abatuuze okwewala okukozesa babbulooka okugoba ku ssente zaabwe.
Nannyini kkolero lya Dei BioPharma Dr. Mathias Magoola asuubizza abatuuze abalina abaana abasomye emirimu gyonna babaleete batandiike okubawandiika bafune emirimu kuba kkampuni ejja kwetaaga abakozi abasukka mu mitwalo 4.
Abatuuze abamu babadde basanyufu era basabye basasulwe mu bwangu bagende newankubadde abamu basabye baweebweyo ku budde.