Amawulire

Kitalo! Abakozi 2 bafudde mu masiro e Kasubi n’omuseresi omukulu Wabulakayole

OMUTAKA Kyesimba Kasujja Sheba Kakande agambye nti omulimu gw’okusereka amasiro g’e Kasubi gwakugenda mu maaso wadde ng'Omusiige Wabulakayole abadde agukulembera yavudde mu bulamu bwensi.

Christopher Kawooya 90, Omutaka Wabulakayole ne Hasifah Nakawuma abaafudde.
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

Bya Dickson Kulumba

OMUTAKA Kyesimba Kasujja Sheba Kakande agambye nti omulimu gw’okusereka amasiro g’e Kasubi gwakugenda mu maaso wadde ng'Omusiige Wabulakayole abadde agukulembera yavudde mu bulamu bwensi.

“Njagala okugumya abazzukkulu bonna nti omulimu gw’okusereka amasiro gwakugenda mu maaso wadde muzzukkulu wange Christopher Kawooya yavudde mu bulamu bwensi. Omulimu gwakusigala nga gutambula nga bwegubadde gutambuzibwa,”Omutaka Kasujja bwe yategeezezza ku Lwokusatu nga April 20, 2022.

Wabulakayole ye museresi omukulu ow’enju za Kabaka era ng’omugenzi Kawooya eyafudde nga April 13, 2022 agukoledde emyaka egisoba 50. Obuvunanyizibwa buno yabutandika 1965 nga yabuggya ku Isaac Kibirige eyali Wabulakoyole Omusiige.

Kasujja yatendereza omugenzi olw’obukozi bwe nga w'afiiridde ng'atendese abantu bangi mu mulimu gw’okusereka enju ez’essubi mu masiro ag’enjawulo wano mu Buganda n’obukulembeze obw’ennono obwenjawulo.

“Omulimu gw’okusereka enju Muzibu-Azaalampanga gubadde guyimiridde ku bibegabega bya Kawooya era tumwebaza olw’engeri gyakiikiridde ekika kye mu kutuukiriza obuvaanyizibwa buno ,okuwereeza Kabaka we n’Obwakabaka. Ffenna tulina okumuyigirako nti bwetubeera n'obuvunaanyizibwa, tulina okutendekayo abalala abasobola okukuddira mu bigere,”Omutaka Kasujja bwe yeebazizza omugenzi.

Kalibbala Aliddeki, Ssentebe Wa Baganda Nkerettanyi Ali Mu Mbeera Mbi.

Kalibbala Aliddeki, Ssentebe Wa Baganda Nkerettanyi Ali Mu Mbeera Mbi.

Katikkiro w’amasiro g’e Kasubi, David Nkalubo yategeezezza  nga bwe bafiiriddwa omuntu abadde omukugu mu by’okusereka enju mu masiro era n'ategeeza nti mu kiseera kino ow’Omutuba Wabulakayole ,Paul Ssebunya gy'ali e Kasubi ng’agoberera omulimu gw’okusereka okulaba nga gutambuzibwa bulungi.

Kawooya yazaalibwa August 10, 1932 era nga yabadde ow’Olunyiriri lwa Luyombo mu Mutuba gwa Wabulakayole mu ssiga lya Ssebatta e Mutundwe mu kika ky’engeye. Mu masiro abaddeyo ng’omusiige wa Ow’omutuba Wabulakayole era Omutaka Ssebunya alindiriddwa okulonda Omusiige omuggya okudda mu buvunanyizibwa buno.

Mu ngeri y’emu, Bannakibiina ba Baganda Nkerettanyi nga bano bebali ku mulimu gw’okusunsula n’okutegeka essubi erikozesebwa mu masiro e Kasubi, bali mu nnaku olw’okuviibwako munnange Hasifah Nakawuma eyafa mu kkiro ekyakeesa olwa April 13, 2022 oluvannyuma lw’okulwala mu bwangu era yaziikiddwa ku kyalo Bukoona mu disitulikiti y'e Namutumba-Busoga kw'olwo.

Fatia Nanyanzi owaamawulire w’ekibiina kya Baganda Nkerettanyi yategeezezza Bukedde nga bwebali kati  kaweefube w’okufuna obuyambi eri abaana ba Nakawuma, okukola ku ntegeka z’okukola Dduwa ey’ennaku 40 eribeerawo nga May 22,2022 n’okukola ekiggya kye.

Ye Ssentebe w’ekibiina Baganda Nkerettanyi , Robert Aliddeki Kalibbala naye ali ku ndiri ng’atawanyizibwa obulwadde bw’ensigo nga kati anoonya ensimbi obukadde mukaaga okujjanjabibwa.

 

 

 

Tags:
masiro
Kasubi
bafudde