Bya Ivan Wakibi
POLIISI y’e Budaka egumbuludde ekibinja ky’abavubuka ababadde beekalakaasa nga bawakanya eky’ababaka ba palamenti okunoonyereza ku minisita w’ebyassaayansi n’obuyiiya Dr. Monica Musenero.
Abavubuka bano abakulembeddwa Jackson Maganda babadde bakutte ebipande okuli obubaka obwemulugunya ku nsonga eno, wabula poliisi ekulembeddwaamu DPC David Nkurusiza ne bakubamu omukka ogubalagala ne babuna emiwabo.
Okusinziira ku Maganda, Minisita Musenero talina musango nti wabula waliwo ababaka abamuyiganya, okutaataganya emirimu gy’akola n’okumusiiga enziro.
DPC Nkurusiza agambye nga bwe bagumbuludde abavubuka bano kubanga babadde bagootaanya emirimu gy’abasuubuzi mu kibuga Budaka wamu n’ebyantambula ky’atasobola kugumiikiriza
Ono abasabye okukozesa amakubo amatuufu okutuusa okwemulugunya kwabwe eri bekikwatako
Ekitundu ky’e Budaka,minisita Musenero gy’azaalibwa.